TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Harrier kapyata etuze abafumbo ku lw'e Masaka: Ebasudde mu mugga poliisi n'esiitaana okubannyululayo

Harrier kapyata etuze abafumbo ku lw'e Masaka: Ebasudde mu mugga poliisi n'esiitaana okubannyululayo

Added 14th October 2020

ABAFUMBO Rogers Nabasa 36 ne Jackline Kyasiimire 22 bafiiridde mu kabenje akaguddewo ekiro ekikeesesa leero ku Lwokusatu.





Mmotoka yaabwe ekika kya Harrier nnamba UBG 669V y'ebetidde oluvanyuma lw'okukuba akagulumo n'ebuuka mu bbanga okukakkana ng'ebabbise mu mugga .

Kigambibwa nti Nabasa abadde adduka nnyo bw'akubye akagulumo mmotoka n'emuva mu mikono.

Poliisiyebidduka e Lukaya etumizza aba kasiringi okuva e Masaka abasitaanye okunnyululayo mmotoka mu mazzi amangi mw'ebulidde ng'erabikako katono. 

Emirambo giggyiddwamu ng'etuusiddwa ku luguudo ne gitwalibwa mu ggwanika e Masaka. 

Mmotoka ekuumirwa ku Poliisi e Lukaya ng'abafudde babadde bava Mbarara nga badda Kampala. 

   Bya Ssennabulya Baagalayina

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.