TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda eteereddwa ku lukulala lw'amawanga 9 abalambuzi ge batasaanye kusubwa

Uganda eteereddwa ku lukulala lw'amawanga 9 abalambuzi ge batasaanye kusubwa

Added 14th October 2020

Wadde nga Corona ataataaganyizza n'okugoya amawanga okwetoloola ensi nga n'agamu gazzeemu okumyumyula omuggalo, Uganda eteereddwa ku mwanjo gw'amawanga 9 abalambuze ge batasaanye kusubwa nga kino kivudde ku kaweefube Minisitule w'Ebyobulamu gw'etaddemu okulwanyisa Coronavirus.

Okusinziira ku lukalala luno, wadde nga amawanga ga Bulaaya agasinga gazzeemu okusattira olwa ssenyiga omukambwe ono okuddamu okweriisa enkuuli, ebitundu by'ensi ebirala nga ne Uganda mw'ogitwalidde baddirizza ku muggalo naddala mu by'entambula n'obulambuzi.

Uganda enokoddwaayo ng'erimu ku mawanga agasinga okwaniriza abagenyi ate nga bagoberera emitendera egyassibwawo okusobola okulwanyisa ssenyiga omukambwe owa Coronavirus.

Ekimu ku byetaagisa omuntu ava ebweru wa Uganda okwesogga eggwanga lyattu Uganda kwe nga wakebeddwa n'ozuulwa nga tolina coronavirus mu ssaawa 72 z'ennaku ssatu emabega nga waakatuuka ku kisaawe.

" Mu Uganda, si kyabulijjo okukusaba okukeberwa Covid19 ng'ofuluma eggwanga. Kitegeeza nti omuntu afuluma eggwanga aba ateekeddwa okusooka okwekebeza Corona mu ssaawa 120 nga tannasimbula.

Ekirala wadde nga waliwo kafiyu akolebwa okuva ku ssaawa 3 ez'elkiro okutuuka ku okukoma ku ssaawa 12 ez'okumakya, bw'oba ofuluma eggwanga mu budde bwe bumu okkiriza okuyitawo ne weeyongerayo," Aba Forbes bwe baayogedde ku Uganda.

Okusinziira ku byawandiikiddwa ku mukutu gwabwe, aba Forbes bagamba nti Uganda tekyatawaanyizibwa nnyo ssenyiga omukambwe wadde nga mu mwezi gwa Septemberomuwendo gw'abaazuuliddwaamu COVID19 gwalinnyeemu. Kyokka okutwaliza awamu, Uganda erina abalwadde ba Covid19 9000 bokka n'abafudde 81, guno omuwendo mutono okusinziira ku biri mu mawanga amalala okwetooloola ensi.

Aba Lancet Commission baafulumizza lipoota eyalaze nti Uganda ly'eggwanga ku lukalu lwa Afrika eryasinze okulwanyisa obulwadde bwa Covid19 mu  mwezi gwa August nga kaweefube ono okulwanyisa ssenyiga omukambwe awomeddwaamu omutwe minisitule y'Ebyobulamu.

Mu mawanga 91 agaatereddwa ku minzaani mu kaweefube w'okulwanyisa obulwadde bwa corona mu nsi yonna, Uganda yakutte kya Ranking 10, ate n'esinga mu Afrika yonna.

Buno buwanguzi bwennyini eri minisitule y'Ebyobulamu ekulemberwa Dr. Acheng Ruth wamu n'omuwandiisi w'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr. Diana Atwine abali ku mwanjo gw'okulwanyisa ssenyiga omukambwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...