TOP

Beekalakaasizza lwa mugagga abagoba ku ttaka

Added 14th October 2020

Abatuuze abagobwa ku ttaka nga beekalakaasa.

Abatuuze abagobwa ku ttaka nga beekalakaasa.

Abatuuze abasoba mu 500 ku kyalo ky'e Mmanja mu ggombolola y'e Kisekka mu disitulikiti y'e Lwengo bakedde kwekalakaasa nga bawakanya eky'omugagga Ramathan Bwanika okubagoba ku ttaka lyabwe

Abamu ku bakadde abali ku ttaka.

 Bano baweereddwa emyezi esatu okusenguka oluvannyuma lwa kkooti y'e Masaka okubalagira okuvaawo mu bwangu. 
Abatuuze bano nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Resty Nakakande bakitadde ku mubaka Hajji Muyanja Mbabaali eyabafera n'abafunira looya ate nadda ku ludda lw'omugagga ono.

Kigambibwa yabalagira okuteeka emikono ku mpapula enkalu kyokka nassaako nti basembye beerule empenda kye bagamba nti si kituufu.  
Omugagga Bwanika asekeredde abatuuze bano n'agamba nti bali ku byabwe kubanga yabasaba okusasula busuulu ne bagaana nga babiyita bya lusaago ng'ate ettaka lilrye.  

Ettaka lino liweza yiika 275 nga Gavumenti yaliwa omugagga ono okumala emyaka 49 ng'alikolerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...