TOP

Mmaze okuyingira palamenti - Maneja Kayemba

Added 15th October 2020

GEOFFREY Kayemba Ssolo, maneja w’omuyimbi Rema Namakula era kittunzi w’abasambi b’omupiira amaze okwewandiisa okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South. Ye yaweereddwa kkaadi ya NUP mu kitundu ng’era akozesa kabonero ka Manvuuli.

Kayemba nga yeewandiisa e Bukomansimbi. Amutunuulidde ye Esther Asiimwe eyakuliddemu omulimu guno.

Kayemba nga yeewandiisa e Bukomansimbi. Amutunuulidde ye Esther Asiimwe eyakuliddemu omulimu guno.

GEOFFREY Kayemba Ssolo, maneja w'omuyimbi Rema Namakula era kittunzi w'abasambi b'omupiira amaze okwewandiisa okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Bukomansimbi South. Ye yaweereddwa kkaadi ya NUP mu kitundu ng'era akozesa kabonero ka Manvuuli.

Kayemba ng'awaga oluvannyuma lw'okwewandiisa.

Yatuuse ku ku kitebe kya Bukomansimbi Town Council we baamuwandiikidde ku ssaawa 3:00 ez'oku makya era gwe baatandikiddeko. Muky. Esther Asiimwe ye yakuliddemu omulimu guno.

Kayemba avuganya n'omubaka Deogratious Kiyingi owa DP ne Bashir Ssemakula owa NRM era olwamaze okumukwasa empapula ze n'ategeeza abawagizi be nti balina kukola kimu kya kumulonda ayingire palamenti ebisigadde babimulekere kubanga akolagana n'abantu bangi omuli abagagga, abazungu mu nsi z'ebweru n'abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo omuli n'abanene ba NRM abagenda okumwanguyizaako okubasakira obuyambi okukulaakulanya ekitundu kyabwe n'abantu.

Kayemba (wakati) ng'agenda okwewandiisa. Ku kkono ye mubaka Kiyingi.

Yeeyamye okuyamba abavubuka okukulaakulanya ebitone byabwe n'okubatandikirawo pulojekiti ezibakulaakulanya kubanga alaba bonna abamuvuganya abakira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.