TOP

Okukuza olunaku lw'emmere mu nsi yonna

Added 16th October 2020

ENSI yonna ng’ekuza olunaku lw’emmere, akulira Nationala Children Authority Martin Kiiza ategeezezza nti mu Uganda abaana 33 ku 100 abali wansi w’emyaka etaano bakona lwa kubulwa byakulya ebyetaagibwa mu mubiri omwana asobole okukula obulungi.
Abaana ebitundu 14 ku 100 abali wansi w'emyaka etaano tebaweza kkiro omwana omulamu z'alina okubeera nazo ate abaana ebitundu 5 ku 100 bakogga ne bakenena lwa kubulwa byakulya.

Kiteeberezebwa nti abaana 97,185 (1.5 ku 100) bafa buli mwaka lwa ndya mbi ne babulwa ebirungo ebibezaawo obulamu.

Kiiza agamba nti okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti abaana ebitundu 49 ku 100 balwala ne baggwamu omusaayi lwa ndya.

Enkola eyatongozebwa mu 2016 emanyiddwa nga National Integrated Early Childhood Development (NIECD) erambika engeri omuzadde oba omuntu alabirira omwana gy'alina okumulabirira naddala mu byendya n'asobola okukula obulungi.

LIPOOTI YA TWAWEZA BY'EZUDDE:

Okunoonyereza okwakoleddwa aba Twaweza nga bali wamu ne Food Rights Alliance ne bafulumya lipooti mu July 2020 eraga nti abantu bakendeezezza nnyo ensasaanya, mu okuva ku bitundu 37 ku 100 mu January okudda ku bitundu 26 ku 100 mu May ne June 2020.

Ekyo kitegeeza nti bateekwa okukendeeza endya gye babadde balyamu mu biseera ebiyise kubanga tebakyalina sente.

Amakkati ku maka agali mu Bannayuganda abakola ebitundu 49 ku 100 sente bazifuna kuva mu kulima ebirime n'ebibala oba enva .

Buli maka 10 goosanga kubeerako abiri (2) abakola emirimu gy'obulunzi ekikola ebitundu 18 ku 100 ate ennyumba 10 osangako emu ng abo omulimu mwe baggya sente kulima.

Nga banjula lipooti eno, Agnes Kirabo owa Food Rights Alliance yagambye nti Corona atulaze nti waliwo abantu abetaaga obuyambi bw'emmere buli kiseera.

MINISITULE Y'EBYOBULIMI KY'EGAMBA:

Alex Lwekuba, kaminsona mu minisitule y'ebyobulimu, mu bubaka bwawadde mu New Vision mu kukuza olunaku lw'emmere mu nsi yonna agambye nti ssemateeka wa Uganda owa 1995, kikakata ku ggwanga okubeera n'emmere emala n'okutumbula endya ennungi.

Agamba nti ng'oggyeko minisitule y'ebyobulimi, gavumenti egenze eteekawo ebitongole ebiruubirira okutumbula obungi bw'emmere era ofiisi ya Katikkiro wa Uganda y'ekwanaganya emirimu gyabyo.

Prof. Charles Ssekyewa naye mu bubakabwe ategeezezza nti emmere efuuyiddwa eddagala n'ebijimusa ebikole esobola okubeeramu ebiriisa naye nga yabulabe eri omubiri gw'omuntu.

Okulima emmere nga tukozesa ebijimusa ebya nnakavundira, okugikwata obulungi mu kukungula n'entereka ebeera nnungi eri omubiri era tebeera na bulabe.

ENGERI ABANTU GYE BAFUNAMU MU KULIMA N'OKULUNDA:

Lipooti ya Twaweza eraga nti Bannayuganda bangi bakendeezezza ensasaanya okutuuka ku bitundu 30 ku 100 bw'ogeraageranya ne sente zebasasaanyanga mu mwezi gwa January.

Okutwaliza awamu amaka mangi galaga nti sente zebasasaanya zeesala okuva ku 14,100/- buli lunaku zebasasaanyanga mu January nga kati basasaanya waakiri 10,800/- kyokka basigala ebyetaago ebimu tebabifunye.

Wabula abasinze okukosebwa beebo abali mu bitundu by'ebyalo, sente zebasasaanya zeesaze okuva ku 14,600/- okutuuka ku 10,300/- ate mu kibuga bavudde ku 13,100/- kati basasaanya 12,300/- ng'ate ebyetaago ebimu tebabifunye.

Amaka agatasobola kufuna byetaago byonna geeyongedde okuva ku bitundu 22 ku 100 mu January okutuuka ku bitundu 26 ku 100.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...