TOP

70 baggaliddwa ku bya Bobi Wine

Added 18th October 2020

Abaavunaaniddwa kwabaddeko Milly Nantale, Proscovia Nakamya n’abalala. Bonna abaavunaaniddwa balina ebyalaani mu Kiyembe era poliisi bwe yali ebakwata abamu baasangibwa batunga ng’abalala bamaze okutunda ebyambalo. Ebyambalo ebyabakwasizza kuliko woovulu nga bazitaddeko n’amayinja ageefaananyiriza aga poliisi n’amagye.

Abamu ku bakazi abaasibiddwa.

Abamu ku bakazi abaasibiddwa.

Abaavunaaniddwa kwabaddeko Milly Nantale, Proscovia Nakamya n'abalala. Bonna abaavunaaniddwa balina ebyalaani mu Kiyembe era
poliisi bwe yali ebakwata abamu baasangibwa batunga ng'abalala bamaze okutunda ebyambalo. Ebyambalo ebyabakwasizza kuliko woovulu nga bazitaddeko n'amayinja ageefaananyiriza aga poliisi n'amagye.

 

Abavubuka abaasibiddwa nga bawaga.

Baavunaaniddwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g'omulamuzi Dorothy Bagyenyi ku Lwokutaano. Baabadde baleese ababeeyimirira naye omuwaabi wa gavumenti n'asaba bamuwe obudde yeetegereze ebiwandiiko bye baaleese.
Wano omulamuzi we yasinzidde okubasindika mu kkomera e Kigo okutuusa nga October 21.

41 BABASINDISE KITALYA
Mu ngeri yeemu n'abavubuka 41 abaakwatibwa mu kikwekweto kye kimu mu Kampala ne Kamwokya nga bambadde ebyambalo ebyefaananyirizaako ebyamagye nabo baasindikiddwa mu kkomera e Kitalya.

Bagguddwaako emisango ebiri okuli ogw'okujeemera ekiragiro ky'obutabeera mu
kibinja ekyateekebwawo okutangira Corona n'okusangibwa n'ebyambalo ebyefaananyiriza eby'abeebyokwerinda ekikontana n'amateeka.

Abavunaaniddwa kuliko Sadat Mubiru, Steven Musoke, Muzafaru Nsubuga, Robert
Sserwanja, Bazira Kiwanuka, Fred Luwaga, Hassan Busuulwa, Willy Tomusange, Sadat Katongole, Paul Kigongo, Shaban Makale, Ssaalongo Abdul Kabonge, Nsamba, Fahad Migadde, Maamood Ssemakula, Moses Mbabazi, Modern Namwanje, Lydia Kiggundu, Agnes Bangi ne Nansove.  Emisango baagibasomedde mu kkooti ya City Hall mu maaso g'omulamuzi Valerian Tuhimbise.

Mu kkooti obwedda bayingizaamu ekibinja kya bantu 10 ne babasomera omusango, ne bafuluma ne baleeta abalala, okutuusa lwe baaweddeyo. Looya waabwe Anthony Wameri yasabye beeyimirirwe naye omulamuzi n'agamba nti olw'obungi bw'abantu abaabadde mu kkooti nga tebeewadde mabanga ekintonkana n'ebiragiro ku Corona, tasobola kutunnula mu kusaba kwabwe.

Oludda oluwaabi lwategeezezza nti okunoonyereza ku misango
gyombi kwawedde era beetegefu okuleeta abajulizi n'ebizibiti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...

Katikkiro Mayiga alabudde b...

'Mbakubiriza okuzannya eby’obufuzi eby’ekintu kiramu nga temusiiga bannammwe nziro wabula okutegeeza abantu enteekateeka...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Ebyewuunyisa mu kiraamo kya...

ENTEEKATEEKA z’okuziika Pasita Augustine Yiga Abizzaayo ziwedde era nga zigenda kugoberera ekiraamo kye yalese....

Abaawangulwa mu kamyufu ka ...

Baagambye nti abeeyita abawanguzi baapangisa amagye ne gakuba abantu n’okubamalako emirembe mu Budiope East, kyokka...