TOP

Abeewagudde ne batabula ekibalo kya NUP ne NRM

Added 18th October 2020

ABATAAYITAMU mu kamyufu ka NRM n’abaalemwa okuyita mu kusunsula kwa NUP batabudde ekibalo mu kalulu k’ababaka ba Palamenti. Bangi beewaggudde ne basalawo okuyingira olwokaano ekiyinza okukosa abaawangula kkaadi z’ebibiina ate awamu kyolekedde okuyamba ebibiina ebirala bye bavuganya nabyo okuyisaamu abantu baabyo.

Mukasa (ku kkono) nga y'akamala okwewandiisa.

Mukasa (ku kkono) nga y'akamala okwewandiisa.

ABATAAYITAMU mu kamyufu ka NRM n'abaalemwa okuyita mu kusunsula kwa NUP batabudde ekibalo mu kalulu k'ababaka ba Palamenti.
Bangi beewaggudde ne basalawo okuyingira olwokaano ekiyinza okukosa abaawangula kkaadi z'ebibiina ate awamu kyolekedde okuyamba ebibiina ebirala bye bavuganya nabyo okuyisaamu abantu baabyo.

Munyagwa ng'ayogera ne basajja be.

E WAKISO
Mu Busiro North, Paul Nsubuga eyawangula kkaadi ya NUP yabadde yaakamala okwewandiisa ku kkaadi eno, ate ne gwe yawangula ku kkaadi y'ekibiina ekyo Kasta Hussein Bukenya naye n'ajja ne yeewandisa okuvuganya ku lulwe.

Kino kyatunuuliddwa ng'ekiyinza okuwa Dennis Galabuzi Ssozi (NRM) enkizo kubanga Polof. Gilbert Bukenya eyavuganya Galabuzi mu kamyufu
ka NRM ye teyakomyewo. Ekiyinza okukosa Galabuzi be bawagizi ba Bukenya abamu abaanyiiga ennyo olw'embiranye ey'amaanyi eyaliwo mu kamyufu era nga wadde ba NRM bakyayinza okulonda ow'ekibiina ekirala.

Kyokka okwetemamu mu b'oludda oluvuganya nakwo kwa maanyi kubanga n'ebibiina ebirala byasimbyewo abantu ku kifo kyekimu. FDC yaleese Bashirah Nantongo ate DP n'ereeta Edgar Lubadde.

Mu Kyaddondo East nayo ebibalo byakyuse mu NRM ne NUP. Pius Mujuzi (NRM) nga yaakamala okwewandiisa, ate ne gwe yawangula mu kamyufu Sitenda Sebalu naye ne yeewandiisa. Abaawangulwa mu kusunsula kwa NUP babiri nabo beewandiisizza okuli Khalid Ssimbwa ne Tonny Sempebwa (Ssentebe wa Kasangati Town Council) bonna baakomyewo mu lwokaano okuttunka ne Nkunyingi Muwada
eyaweebwa kkaadi ya NUP.

 

Kazibwe Majellene owa NUP mu Bukoto Central ng'aliko byannyonnyola.

Mu Wakiso, kino ky'ekifo ekyasinze okuleeta abavuganya abangi nga bali 10 ne kisibagana ne Busiro East nga nayo yavuddemu abavuganya 10.
Oludda oluvuganya gavumenti mu Kyaddondo East nayo lwetemyemu nnyo kubanga FDC yakomezzaawo Apollo Kantinti ate DP n'ereeta James Sserebe. Bonna baagala kudda mu kifo ekibaddemu Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Mu Busiro East awali Medard Lubega Sseggona ku kkaadi ya NUP, Fred Kangave eyammibwa kkaadi ya NUP naye yeewandiisizza okuvuganya. Ono ayingidde mu kibalo kya Sseggona mw'attunkira ennyo ne Emmanuel Magoola Matovu ne Najib Male Kalinda owa NRM. Ekibalo kya Magoola
nakyo kyataataaganye nga FDC mwe yavuganyiza ennyo okulonda okwaggwa ate esimbyewo omuntu omulala Charles Kimera.

DP nayo yaleese Charles Wilson Gala era ono atunuuliddwa nga ayinza okuyingira mu bululu bwa Sseggona kubanga omulundi
ogwaggwa, Sseggona yawangulira ku kkaadi ya DP. Mu munisipaali y'e Ntebe, ab'oludda oluvuganya gavumenti
bali mu kibalo oluvannyuma lw'omubaka w'ekitundu ekyo Rose Tumusiime eyawangulwa mu kamyufu ka NRM ate okuyingira
olwokaano avuganye nga talina kibiina.

Kino kitunuuliddwa ng'ekikosa emikisa gy'owa NRM Shyaka Gashaija. Wabula Michael Kakembo owa NUP ne Abubaker Walusimbi owa FDC, Wilberforce Selyazi owa ANT ne Micheal Kale owa DP kuyinza nabo okubakosa nga bagabanye obululu.

Mu Makindye Ssaabagabo, okukomawo kw'omubaka aliyo Emmanuel Ssempala Kigozi kutabudde ekibalo kya David Sserukenya eyawangula kkaadi ya NUP n'ayita ku Ssempala. Frank Kyazze owa NRM atunuuliddwa ng'ayinza okufuna mu kwetemamu kubanga ne DP yasimbyewo owaayo AbdulFarooq Ssebandeke.

MU KAMPALA                                                                                                             

Mu Kawempe South, munnamawulire Kazibwe Bashir Mbaziira yabadde yaakamala okwewandiisa ku kkaadi ya NUP, ate ne Dr. Roy Ssembogga gwe yamegga mu lwokaano lwa NUP naye ne yeewandiisa. Omubaka w'ekitundu ekyo Mubarak Munyagwa n'abali mu nkambi yaabwe baalaze nga kino bwe kibakolera kubanga Ssembogga asuubirwa okuwagula obululu naddala obuva mu yunivaasite y'e Makerere gye yali ng'omukulembeze w'abayizi
mu 2016.

Owa NRM mu Solomon Mayanja naye abalira ku kwetemamu kuno kubanga n'okudda kwa Richard Ssebuliba Mutumba mu lwokaano nakyo kyongera kutema mu bululu bw'abali ku ludda oluvuganya gavumenti. Mu Makindye East okujja kwa Micheal Mabikke kutema mu bululu bwa NUP eyayisaawo
Derrick Nyeko n'ereka Mabikke. Kitunuuliddwa ng'ekiyamba Ibrahim Kasozi owa FDC aliyo kati n'owa NRM Elijah Owobusinge owa NRM.

Mu Makindye West nayo obululu bwa NUP bwolekedde okugabanibwa wakati w'omubaka aliyo kati Allan Ssewanyana alina kkaadi ya NUP ne Farouk Ntege ng'ono gwe bataawa kkaadi. Owa NRM Achilles Lubega abalira ku kwetemamu kuno okufuna omwagaanya w'ayita.

Mu Lubaga North; Minisita Betty Kamya eyawangula Brian Tindyebwa mu kamyufu ka NRM, olwamaze okwewandiisa ku Lwokuna n'ategeeza nga bw'agenda okuwangula Abubaker Kawalya owa NUP kyokka yeekanze okulaba Tindyebwa nga yeewandiisa e Ntinda ku Lwokutaano olwo ekibalo kye n'akirinnyamu eggere kubanga enkambi ya Kamya yabadde ebalira nnyo ku kutemamu obululu bwa NUP wakati wa Kawalya n'omubaka aliyo kati Moses Kasibante gwe bataawa kkaadi.

Mu Nakawa East, enkambi y'omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi kyagikoze bubi nga Kenneth Paul Kakande gwe bataawa kkaadi ku kifo ekyo, ate naye yeewandiisizza. Ab'enkambi ya Margaret Zziwa owa NRM kati babalira nnyo ku kutemamu mu kululu bwa NUP ekiyinza okuwa omuntu waabwe enkizo.

Ebirala laba Bukedde ku Ssande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...