TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali bba wa Julie Mutesasira awasizza omukazi omulala

Eyali bba wa Julie Mutesasira awasizza omukazi omulala

Added 19th October 2020

OMUSUMBA Steven Mutesasira nga ye bba w’omuyimbi Julie Mutesasira ow’Ekkanisa ya Lord Evangelistic Church Kamwokya akubye omukazi omulala empeta.

Omusumba Mutesasira (wakati) ne Nyamahunge nga baakagattibwa mu kkanisa ya Entebbe Faith Power Centre.

Omusumba Mutesasira (wakati) ne Nyamahunge nga baakagattibwa mu kkanisa ya Entebbe Faith Power Centre.





Mutesasira yawasizza Judith Nyamahunge mu Kkanisa ya Entebe Faith Power Center Church ku Lwomukaaga ku mukolo ogwabaddeko obukuumi obungi.

Omukolo gwasooka kukuumibwa nga gwa kyama wabula ku Lwokuna, kkaadi eziyita abagenyi lwe zaatandika okufuluma bangi nga tebakimanyi n'abamu ku bagenyi baategeera ku olwo wadde nga baali bayite okuva abagole lwe baatandika okutegeka embaga naye nga tebamanyi mugole na wa emikolo gye giri.

Baagattiddwa Omusumba Charles Kiwanuka, omukisa ogusembayo ne gubaweebwa Omusumba Franklin Mondo Mugisha ow'Ekkanisa ya Empowerment Center Mutundwe.

Abagole baagezezzaako okukola omukolo ogwa ssaayansi bwe baasembezza abagenyi abasaamusaamu ku lisepusoni eyabadde ku Lake Victoria Hotel e Ntebe.

Julie nga ye yayimba ennyimba nga; Gwe njagala, Asobola, Ekikunyumira, Nkizudde, Nzuuno, Kijja kuggwa n'endala, yagenda e Canada mu 2017 gye yasaba n'obutuuze.

Mu kugenda, Julie eyalwawo okutegeeza nti yayawukana ne Steven, oluvannyuma yategeeza nga bwe baalina obutakkaanya obutayinza kunogerwa ddagala.

Amaka gaabwe gaatandika okuyuuga wakati wa 2013 ne 2016 Julie we yanyinnyitizza okugenda e Canada nga bw'adda e Uganda ate n'agenda mu Amerika okutuusa lwe yasalawo obutadda n'asigala e Canada.

Yalwangayo kyokka nga bw'akomawo agamba nti abaddeyo n'ebivvulu okutuusa mu 2017 amawulire lwe gaakakasibwa nti yayawukana ne Steven.

Yalaba takomawo, Steven yagenda mu kkooti eyamukkirizza gye buvuddeko okugattululwa ne Julie mu butongole era kwe kutandika emikolo egy'enkukutu.

Julie ne Mutesaasira be bazaala Ezekiel ne Esther Mutesasira abaawangula empaka za East Africa's Got Talent eza 2019 e Nairobi mu Kenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...