TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaana be nasomesanga bansanga ntunda nnyaanya ne banjerega

Abaana be nasomesanga bansanga ntunda nnyaanya ne banjerega

Added 19th October 2020

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld e Bwaise era maneja w'amasomero ga Wonderworld Junior Schools e Kibiri ne Bwaise agamba; Nze omu ku basomesa abakoseddwa ennyo embeera eno. Corona answazizza nnyo mu bayizi bange be nsomesa, ayanise nnyo obuziina bwaffe abasomesa. 

Omulimu gw'obusomesa sigwevuma kuba naazimbamu n'akayumba kange e Ndejje, ne nteekawo ne ka bizinensi k'edduuka ne nteekamu omukozi. Omuggalo bwe gwajja, nasalawo ssente zonna ze nnali ntereka nzisuubulemu ebintu ne mbiteeka mu dduuka ne ndijjuza bulungi nga mmanyi ng'enda kubeera mu dduuka lyange nga bwe nninda abayizi okuddamu okusoma, tuddemu tukole. 

Ssente ezaasigalawo naasalawo okugulira bakadde bange ebintu by'okukozesa mbatwalireko mu kyalo, olwo ndyoke nzire e Ndejje mu dduuka lyange. Bwe nagenda mu kyalo, ekiro pulezidenti n'alangirira ng'aweze emmotoka zonna wadde bodaboda okuddamu okusaabaza abantu, ebintu ne bitabuka nga sikyasobola kuvaayo. 

Omukozi gwe nnaleka mu dduuka nalinga muwuliza ng'aηηamba nti ebintu bitambula bulungi, kyokka nagenda okudda, nasanga omukozi ebintu byange byonna yabisiba, yaleeta emmotoka n'abitikka edduuka lyonna n'alitwala teyandekeramu kantu bwentyo ne nzira ku zzero. Mukama wange yampaayo 500,000/- neetereeza.

Waliwo mukwano gwange eyampa amagezi ntandike okusuubula ennyaanya, nafuna omudaala mu katale e Kyengera ne ntandika okusuubula ennyaanya ze ntunda kati.  Lumu mba ndi ku mudaala, omuzadde yajja okugula ennyaanya ng'ali n'omwana omu ku be nsomesa.

Omwana yeewuunya, n'aηηamba nti "ticca Teo bulijjo otunda nnyaanya ng'ate bulijjo otugamba nti tusome nnyo tuleme kutunda nnyaanya mu butale, nti tubeere nga ggwe." Ekintu ekyo kyannuma, ne mpulira ng'ekitiibwa kyange ng'omusomesa kisse, naye neekaza, maama we n'amuggyawo mangu. 

Enkeera omwana ono yakuηηaanya abaana abalala ababeera e Kyengera nga mbasomesa n'abaleeta ku mudaala gwange, nti bajje balabe kye nkola, nga balaba ng'ekivve, naye nababuzaabuza, wabula ne nsigala mu buswavu. Bulijjo nnabaleeteranga abantu ab'amaanyi omuli; ba looya, ba dokita, abayimbi ab'amannya okubasikiriza okusoma ennyo nabo okubeera ab'amaanyi, kyokka ate nze bansanze mu katale ntunda nnyaanya. Kibadde kya kusoomooza kunene. 

BATUWE KU SSENTE ZA NSSF TWEYAMBE                                                                                                                                                             Tusaba gavumenti etuggyirewo emisoso emingi ku ssente ze yatuwadde obuwumbi 20 okutuyambako tusobole okuziganyulwamu.  Abamu tulina SACCO naye tetuzifunanga, n'amasomero g'obwannannyini tuyambibweko gavumenti naddala okutuukiriza ebyetaago bya Covid-19, ‘temperature gun' (ezipima ebbugumu ly'omuntu ezipima ebbugumu ly'omuntu bazituwe ne ba nnabyabufuzi bayambeko ku masomero g'obwannannyini. 

Tusaba ne ku ssente zaffe eza NSSF batuweeyo tweyambeyambe, kuba tunyigiriziddwa nnyo, abamu bookya kasooli ku kkubo, abalala bookya gonja. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.