TOP

Paasita Yiga mulwadde muyi

Added 19th October 2020

Paasita Yiga

Paasita Yiga

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi be era abasinga bali mu kiyongobero.

Kino kiddiridde Yiga okweyongera okunafuwa olw'obulwadde obumutawaanya era abaabadde bamuggye mu ddwaaliro e Nsambya wiiki ewedde ne baamuzzaayo ku Lwomukaaga ng'ali bubi.  Ku kkanisa ya Yiga e Kawaala, abagoberezi twabasanze bali mu kumusabira Katonda amussuuse.

Abamu ku be twayogeddeko nabo abataayadde kwatuukiriza mannya baagambye nti okuva lwe yakomawo okuva e South Afrika, abadde mugonvu nga bw'atereeramu katono ate n'addamu okunafuwa.  Kigambibwa nti alumizibwa bulwadde bwa kibumba ne puleesa. Mu ddwaaliro e Nsambya, yasooka kumalayo ennaku 4 gye baamuggya okumutwala mu maka g'e e Lubaga w'abadde amaze wiiki n'ennaku wabula ng'abadde agendanga mu ddwaaliro n'afuna obujjanjabi nga n'embeera egenda etereera. 

Wabula kigambibwa nti ku nkomerero ya wiiki ewedde yazzeemu okutabuka era omusawo n'alagira atwalibwe mu ddwaaliro abantu we batamutuukirako kumwogeza. 

BASISINKANA MUTABANI WE                                                                                                                                                                                              Ensonga z'okulwala kwa Yiga zibadde zikyali za kyama mu kkanisa era abagobereze bakyagenda mu maaso n'okujja mu kkanisa okukolebwako kyokka bwe batuuka, mutabani wa Yiga, omusumba Andrew Jjengo y'abalaba.  Mu ngeri y'okumatiza abakkiriza abajja babategeeza nti Yiga mulamu.

Waliwo ba ‘Ushers' abasooka okubudaabuda abantu, bakukakasa nti tali bubi era bagenzeeko mu ddwaaliro ne bamulambula ng'akomawo mu bwangu.  Okusaba mu kkanisa eggulo (Ssande) kwakulembeddwamu Jjengo eyakukoledde mu situdiyo za ttivvi ng'abaabadde mu kkanisa obwedda kwe bakugobererera.

Jjengo era y'akola n'omulimu gw'okulaba n'okubudaabuda abantu mu ngeri ey'enjawulo (counseling) nga naye okumulaba osasula 100,000/- wadde ng'abamu bajja bamanyi nti bagenda kusanga Yiga kuba baba tebamanyi nti mulwadde. Ku kkanisa, omuntu yenna awalira nti ayagala kulaba Yiga, bakola ekisoboka okumumatiza omuli n'okumukakasa nti Jjengo aliko amafuta agatamanyi ga kitaawe Yiga! 

Bwe twakubidde omu ku bakulu ku ttivvi ya Yiga eya ABS eyategeerekeseeko erya Shakirah ku sssimu yatutegeezezza nti okulwala kwa Yiga tekirina kutwalibwa nga nsonga kubanga asobola okulwala ng'omuntu yenna era n'akkiriza nti kituufu omusumba mukosefukosefu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...