TOP

Ababazzi ku Bbiri bataayizza ababbi ne babakuba

Added 19th October 2020

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja kano keeyita Ggaali ng'abavubuka bano batambulira mu kikoosi nga bakuba abantu ne babanyagako ebyabwe naddala mu bitundu by'omu Kampala.

Ku Lwokuna ne ku Lwokutaano, abakolera ku nkulungo y'oku Bbiri mu munisipaali y'e Kawempe baavudde mu mbeera ne bataayiza, Denis Mwesigwa eyabadde ku kibinja kino nga bamulanga kulumba bantu ne babanyagulula emisana. 

Mwesigwa yasoose n'atwalibwa ku poliisi y'oku Kaleerwe n'aggulwako omusango ku fayiro nnamba SD REF 23/15/10/2020 oluvannyuma n'atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okujjanjabibwa ng'ono ye yalonkomye banne bwe bali mu kibinja kino era abamu ne bakwatibwa.  Abakwate kuliko; Moses Kityo, Rajab Mugisha, Sadrack Mubiru, Abdu Ssemuwemba, Denis Ssenoga, David Lukwago, Umar Zziwa ne Eric Kavuma.

Dorah Namubiru, munnamawulire wa ttivvi emu y'omu ku baakubiddwa ne bamutwalako ebintu bye. Ono yagambye nti, yabadde akola emboozi emu ku beesimbyewo ku bubaka bwa Palamenti n'agwa mu kitimba ky'abavubuka bano abaabadde beefudde abawagizi nga basoba 50 nga baatandikidde mu kibuga nga bagenda bakuba abantu nga bwe bababbako ebyabwe. 

Yayongeddeko nti yabadde ku boda bwe yatuuse ku Nkulungo y'oku Bbiri ne basamba ppikippiki kwe yabadde ne bagwa olwo ne bamuggyako ensawo omwabadde ssente n'essimu. Olw'okuba baabadde bangi, abasuubuzi b'oku Bbiri baagobaganye nabo ne bakwatako omu. 

James Ssenkaali nga mubazzi Ku Bbiri yasabye poliisi okuva mu by'okusaaga etandike okukuba abavubuka bano ku nnyama kuba bafuuse ba mutawaana mu Kampala ng'obubbi babukola emisana n'ekiro. Yagambye nti ku luno baakubye abantu ku ssaawa 7:00 era yagenze okutuuka nga bakubyeko omu. 

Tubo Nakiyingi omu ku baakubiddwa nga mutuuze w'e Kawempe Corner Zooni yagambye nti, yabadde ku bodaboda ng'ava Kampala adda waka n'asanga ekibinja ky'aba-vubuka bano ku Bbiri ne bamusikako akaveera n'ensawo n'agwa ne bamulinnyirira wansi nga bwe bamukuba n'afuna ebuvune ku magulu, emikono n'eriiso. 

Luke Owoyesigire omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yategeezezza nti, baakutteko abavubuka mukaaga abali mu kibinja kino. Yagambye nti ekibinja ky'ekigaali teki

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...