TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro Mayiga alabudde abaakubye Abataka ttiyaggaasi

Katikkiro Mayiga alabudde abaakubye Abataka ttiyaggaasi

Added 19th October 2020

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku nninga okukomya ebikolwa ebityoboola obuwangwa, ennono n'eddembe ly'obuntu.

Obwakabaka bwennyamivu olw'ebikolwa ebityoboola obuwangwa n'ennono. Abembogo bangi, bagwa mu biti eby'enjawulo, abavubuka n'abakadde balina endowooza ez'ebyobufuzi ez'enjawulo, basoma eddiini ez'enjawulo n'olwekyo omukolo bwe gubeera ku butaka kifaananako abantu bwe bagenda mu ssinzizo kubanga Klezia eyingirwamu abantu abamawanga, abeby'obufuzi n'ebika ebyenjawulo." Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yagambye.

Mayiga yagambye nti, basaba abakwatibwako ensonga eno, okugikwata n'obwegendereza n'ebikolwa nga bino, bireme kuddamu kubaawo. Ku Lwomukaaga, ab'ekika ky'Embogo, baategese omukolo gw'okusabira jjajjaabwe Omutaka Kayiira Gajuule Fredrick Kasibante IV ku butaka bw'ekika e Mugulu mu Ssingo.

Mmisa yabadde ya kwebaza katonda okumusobozesa okuweereza Obwakabaka emyaka mukaaga nga ye ssentebe w'olukiiko lw'abataka b'obusolya bw'ebika by'Abaganda.

Mmisa yakulembeddwa Omusumba w'essaza ly'e Masaka, eyawummula, Bp. John Baptist Kaggwa. Poliisi y'e Mityana olwawulidde nti, omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu yabadde wa kwetaba mu Mmisa eno, omuduumizi waayo, Mukono Mwine n'ayungula basajja be okwabadde n'aba LDU ne bazingako ekifo.

"Ani abalagidde okukuggaanira wano, mbala bbiri nga buli omu azze mu maka ge." Mukono Mwine bwe yagambye abaabadde mu Mmisa. Mu kaseera kano, Omusumba Kaggwa yabadde atuuse wakati mu Mmisa era Mwine yakanze kuwa biragiro nga teri amunyega. Yalumbye abafumbi gye baabadde n'agamba nti, ‘Emmere gye mufumba mugiyiwe mudde ewammwe luno olukuggaana teruli mu mateeka.'

Omusumba Kaggwa ekikolwa kya Mukono Mwine kyamutabudde n'agamba nti, lyabadde jjoogo na kutyoboola n'agamba nti, tulina okusabira ennyo eggwanga lyaffe naddala mu kaseera kano. Yayongeddeko nti, Mukono Mwine kye yakoze, si y'engeri gye bakwatamu abantu, yandibadde asooka kwetegereza kigenda mu maaso.

Omusumba yabadde ayogera bino, nga Mwine ne basajja be bali mu nnyumba ya Gajuule bagyaza kisenge ku kisenge. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti, ekyabadde kigenda mu maaso tekwabadde kusaba, lwabadde lukuggaana lwa kika ate waabaddewo ne bannabyabufuzi abaabadde baagala okulwetabamu.

Kyokka Omutaka Kayiira Gajuule yagambye nti, " Nabadde mu maka gange Abazzukkulu bazze kunkyalirako n'okunkulisa obuvunaanyizibwa naye ne wajjawo embeera bw'etyo n'olwekyo tusabiragane.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...