TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Lufula baagala Amongi atwale abakulembeze baabwe mu kkooti

Aba Lufula baagala Amongi atwale abakulembeze baabwe mu kkooti

Added 20th October 2020

ABATEMI b'ennyama mu lufula ya City Abattoir mu Kampala basabye Minisita wa Kampala, Betty Amongi ateekewo akakiiko kanoonyereze ku bakulembeze baabwe be baafuumudde.

ABATEMI b'ennyama mu lufula ya City Abattoir mu Kampala basabye Minisita wa Kampala, Betty Amongi ateekewo akakiiko kanoonyereze ku bakulembeze baabwe be baafuumudde. 

Balumirizza abakulembeze bano okubulankanya ensimbi ze babadde babasoloozaamu eziri mu buwumbi musanvu. Bino abatemi b'ennyama baabyogeredde mu lukiiko lwa bannamawulire mwe baayanjulidde obukulembeze obupya obw'ekiseera eri basuubuzi bannaabwe ku Ssande nga October 18, 2020.

Baategeezezza nti obukulembeze obubaddewo nga bukulemberwa Abbey Mugumba bumaze emyaka 10 nga bubasoloozaamu ssente, ze bagamba nti ziri mu buwumbi musanvu era baagala zibaddizibwe. Bino byonna biddiridde ekiragiro ekyafulumiziddwa Pulezidenti wiiki ewedde nga kiragira Minisita wa Kampala okuyimiriza obukulembeze obuli mu butale ne lufula za Kampala.

Ekiragiro kino olwagudde mu matu g'abakinjaagi mu lufula eno ne basitukiramu ku Lwokubiri ne bafulumya abakulembeze baabwe mu lufula eno. Abakinjaagi bano abaakulembeddwa Robert Sserunkuuma ne Kafuuma Ssemugera baagambye nti baasanyukidde ekiragiro kya Pulezidenti kubanga ababadde mu bukulembeze babadde baafuuka bannakyemalira abatagambwako.

"Tuli basanyufu nnyo olw'ekiragiro kya Pulezidenti era ffe wano mu lufula twakitadde dda mu nkola ne tufuna n'obukulembeze obw'ekiseera. Mu kiseera kino tulinze kimu KCCA etutegekere okulonda abakulembeze abaggya," Sserunkuuma bwe yategeezezza.

Sserunkuuma ne banne baalabudde abaagobeddwa ku bukulembeze, obutagezaako kuddayo ku kifuba kubanga babeetegekedde okubakwata babakwase poliisi.

Baagambye nti ssinga minisita Amongi anaaba tataddeewo kakiiko kunoonyereza ku bukulembeze bwa Mugumba, ensonga bagenda kuzongerayo mu kkooti asobole okubaddiza ssente zaabwe z'amaze emyaka kkumi ng'abasoloozaamu mu bukyamu ate nga talaga kye zikoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Henry Okello Oryem (ku ddyo) ne Dr. Ahmed Sengendo Kaweesa abadde akulira IUIU.

Uganda esabye ku yunivasite...

UGANDA esabye amawanga ag'Obusiraamu obutasuulirira Yunivasite ya Islamic University In Uganda IUIU, kubanga abazadde...

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga(owookubiri okuva ku kkono) ng’aliko by’ayogera ne Dr.Richard Idro( ku kkono) ng’ono ye Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasawo mu Uganda abaakyadde e Bulange - Mmengo ku Lwokubiri.

Gavumenti eyongeze abasawo ...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye Gavumenti okusasula abasawo ensimbi ezitegeerekeka, esse n'ebikozesebwa mu...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata waakusiibulw...

Supreme Mufti, Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa, agambye nti embeera ya Sheikh Nuhu Muzaata egenda etereera. ...

Nakalema ng’ali ne Ndyanabo ku ofiisi za Vision Group.

Nakalema ayogedde ebimusoom...

AKAKIIKO akalwanyisa enguzi mu maka g'obwa Pulezidenti kalaze bye katuuseeko mu myaka ebiri okuva lwe kaatandikibwawo...

Muteesasira n’abasuubuzi abalala nga balumbye minisita.

Ab'akatale k'e Wandegeya ba...

ABASUUBUZI mu katale k'e Wandegeya balemesezza minisita wa Kampala, Nnalongo Benny Namugwanya okulondesa abakulembeze...