TOP

Abavuganya Ssekandi baagala kumusuuza ggaati

Added 20th October 2020

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa nti amaanyi agamuteekeddwaako galimu ne bannabyabufuzi abatunuulidde entebe y’obumyuka bwa Pulezidenti, abali mu kibalo nti bwe basuuza Ssekandi ekifo ky’omubaka wa Bukoto Central, emikisa gy’okusigaza ekifo ky’omumyuka wa Pulezidenti giba mitono nnyo.

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky'omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa nti amaanyi agamuteekeddwaako galimu ne bannabyabufuzi abatunuulidde entebe y'obumyuka bwa Pulezidenti, abali mu kibalo nti bwe basuuza Ssekandi ekifo ky'omubaka wa Bukoto Central, emikisa gy'okusigaza ekifo ky'omumyuka wa Pulezidenti giba mitono nnyo.

Kazibwe owa NUP.

Okuva mu 2005 lwe baggulawo ebibiina by'ebyobufuzi, Edward Kiwanuka Ssekandi abadde tavuganyizibwa mu kamyufu ka NRM wabula ku mulundi guno, baamwesimbyeko babiri era ne bateekawo okuvuganya okw'amaanyi.

Ssekandi yafunye obululu 4,889 n'addirirwa Godfrey Sseremba Mayanja eyafunye 2,377ate Fredrick Luswata (Kipaapaali) n'afuna 2,314 kyokka bombi abaawanguddwa baasigadde balumiriza nti emivuyo gyasusse era bombi baakomyewo mu kalulu ka bonna ate DP n'esimbawo Emmanuel Ssebamala ne NUP nayo n'ereeta Magellan Kazibwe nga kati be battunka ne Ssekandi.

BAKOZE EFFUJJO NE BAYUZA EBIPANDE BYA SSEKANDI
Mu kiro ekyakeesezza eggulo, abantu abatannaba kutegeerekeka baayuzizza ebipande bya Ssekandi mu ngeri ey'effujjo. Baasinze kutimbula ebyo ebyabadde ku maduuka ne ku nguudo ate ebimu baabikuddemu amaaso.

Gerald Ntuuwa akulira okunoonyeza Ssekandi obululu yagambye nti bateebereza okuba ng'abavubuka b'ekibiina kya National Unity Platform be bali emabega w'ekikolwa kino. Ntuuwa yagambye nti ensonga babadde tebannazitwala ku poliisi oluvannyuma lw'okwebuuza ku mukama waabwe Ssekandi n'amuwabula nti babikwate mu mbeera ereeta emirembe mu kitundu.

Gye buvuddeko, waliwo ttiimu ya Ssekandi eyasindikiddwa okutimba ebipande bye ku kyalo Buyaga wabula abavubuka baggyeeyo emiggo ne bagoba ttiimu ya Ssekandi ne bagitwala nga ne nabugi si mufungize.

Sseremba

Kyokka Magellane Kazibwe eyeesimbyewo ku kkaadi ya NUP yawakanyizza eby'abawagizi b'ekibiina okwonoona ebipande bya Ssekandi n'agamba nti byogerwa abagezaako okwonoona erinnya ly'ekibiina era n'akkaatiriza nti bannakibiina bantu bakkakkamu era bampisa wabula waliwo abagezaako okubassaako ekifaananyi ekibi eky'okukola effujjo.

Okuva Jude Mbabaali owa DP lwe yava mu kuvuganya mu Bukoto Central, Ssekandi abadde tafuna kuvuganyizibwa kwa maanyi, era mu kalulu ka 2016 yafuna obululu 12,000 n'addirirwa Paul Migadde (eyali Ssentebe w'eggombolola y'e Kyannamukaaka) eyafuna obululu 3,467; olwo Majellan Kazibwe n'akwata ekyokusatu n'obululu 2,591 ate Frederick Ddembe n'afuna 1,339 ate Moses Matovu n'afuna 465.

Akalulu akaatuuyanya ennyo Ssekandi kaali ka 2011 mwe yafuna obululu 11,380, ate Jude Mbabaali (DP) n'afuna 10,146; Abdu Nasser Mwanje Ssennabulya n'afuna 1,424 ate Stephen Muwulya n'afuna 0. Akalulu ako kaalimu okulwanagana era abawagizi ba Mbabaali tebaamatira.

Effujjo eryali mu kalulu ako litandise okweyoleka ne mu kalulu kano nga kigambibwa nti liva ku kuvuganya okw'amaanyi wakati wa Ssekandi ne b'attunka nabo okuli Ssebamala, Kazibwe, Sseremba ne Ddembe. Abavuganya Ssekandi bagamba nti okuggyako enfuufu y'oluseregende lw'emmotoka ezaamuweebwa ng'omumyuka wa Pulezidenti, talina kinene ky'asakidde balonzi.

Kigambibwa nti abamu baasooka kumusaba kuwummula nga bagamba nti emyaka (kati 26) gy'aweerezza gimala era bwe kirema ne basalawo okumuvuganya. Migadde nga yabadde yeesimbyewo mu kamyufu ka NRM ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti y'e Masaka yagambye nti akalulu ka Bukoto Central ak'omulundi guno kagenda kuba kazibu nnyo okufaananako ne ke baayitamu mu 2011.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...