TOP

Aba NRM balidde mu kalulu k'abavubuka e Mpigi

Added 20th October 2020

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu owa NUP kyokka Muluya n’amuwangulira waggulu.

Ekibiina kya NRM kyeriisizza nkuuli mu kalulu k'abavubuka mu Butambala, Mpigi ne Gomba.

Embiranye mu kalulu kano naddala mu disitulikiti y'e Mpigi Butambala ne Gomba ebadde wakati w'ekibiina kya NRM ne NUP kyokka gye byaggweeredde nga NRM ewangudde ebifo byonna aba NUP ne baviiramu awo.

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w'abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu owa NUP kyokka Muluya n'amuwangulira waggulu.

Abaawangudde ebifo nga bajaganya. Kuliko ssentebe Manisoor Muluya (ku ddyo), amumyuka Winnie Nakandi, omuwanika Herbert Tebajjirwa Kisa n'omuwandiisi, Ivan Ssewanyana.

Ebifo ebirala ebibaddeko okuvuganya okw'amaanyi kye ky'omuwanika ekibaddeko Herbert Tabajjirwakisa owa NRM n'ekifo ky'obuwandiisi n'eky'akiikirira abawala ku lukiiko lwa disitulikiti era byonna aba NRM baabiwangudde.

E Butambala munna NRM, Sharif Muyanja yawangudde obwassentebe n'ebifo ebirala byonna ne biwangulwa aba NRM okuli Derrick Kizito awangudde eky'obum-yuka bwa ssentebe, Edirua Muyingo omuwanika, Musisi Wandera, omuwandiisi Aisha Naluyange ow'abawala, Julius Matovu ow'amawulire n'abalala.

E Gomba embiranye ebadde wakati wa munna NRM Kisakyamukama Wamala Yiga ne munna kibiina kya NUP, Wahabu Muwanguzi  kyokka owa NRM Wamala n'awangula n'obululu 17 ne banne aba NRM. Aba NUP baaviiriddemu awo nga tebafunyeeyo kifo kyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...