TOP

Eyabbye enkoko bamukubye mizibu

Added 20th October 2020

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

BYA WASSWA B. SSENTONGO
ABATUUZE ku kyalo Kasalirwe mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso bakutte omuvubuka n'enkoko enzibe  n'amatooke ne bamukuba emiggo era abakulembeze be bamutaasizza ne bamutwala ku poliisi y'e Matugga.

Jimmy Mbabaali 27, ow'oku kyalo Kasalirwe, yakubiddwa mizibu nga bamukutte n'enkoko za Sophie Nampeera ng'era we baamukwatidde yabadde amaze okusalako emu ng'ateekateeka kufumba kyamisana.

Mbabaali n'enkoko eyamukwasizza ng'amaze okugisala.


Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw'alaajana ng'agamba nga bw'atali mubbi ng'enkoko baagimuwadde buwi. Nampeera yategeezezza ng'ababbi bwe bayitiridde okumubbira enkoko  nga guno mulundi gwa mukaaga nga bajja ne bamenya ennyumba mw'azirundira ne bazibba.


Kkansala w'ekitundu kino, Dan Wasswa  asabye abavubuka okukola okusinga okwenyigira mu bubbi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...