TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannakawempe mukolere okweggya mu bwavu - Minisita Kasolo

Bannakawempe mukolere okweggya mu bwavu - Minisita Kasolo

Added 20th October 2020

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira mu byabufuzi wabula bakole ebyo ebiyinza okubayamba okweggya mu bwavu.

Kasolo agambye nti ekimu ku bisibye Bannakampala mu bwavu kwekulekawo emirimu mwe balina okugya ssente kyokka ne batandika okukuuta akadingiddi k'ebyobufuzi byabo abeesimbyewo nga n'abamu kibaviiriddeko okuwunzikira mu makomera olwo ne kivirako ebyenfuna byabwe okugootaana.

Ono alabudde abantu obutaddamu kulimbibwalimbibwa munnabyabufuzi yenna amulagira okuggalawo edduuka yeekalakaase ekintu ky'agambye nti tekirina kye kiyinza kubongerako.

"Mwetegereze nnyo omukulembeze yenna avumirira enkulaakulana abeera ezze mu kitundu kubanga oyo ye mulabe wammwe asooka!," Kasolo bwe yagambye.

Enkola yemyooga egwnderedwamu okuyamba kubantu abegattira awamu  abakola omulimu ogufanagana, nga emitendera gyabantu abawerera ddala 18 abetegese okuterekera awamu  bebagenda okusooka okugiganyurwamu.

Mu bano kuliko, aba Boda boda, abatakisi, aba Saluuni, Ababazzi, Abakyala abatandiseewo obulimu obutonotono,abebyalaani, aba Restaurant, abookya ebyuma, abavubi, bamakanika, abayimbi, abaazirwanako, abavubuka , abantu abaliko obulemu, ab'obutale , bassentebe by'ebyalo ne bannamawulire.

RCC wa Kampala Farida Mayanja Mpiima akubirizza abakulembeze b'ebitundu awatali kusosola mu bibiina wadde eddiini okukwasizeeko abantu baabwe mu kunnyikiza enkola y'okubayigiriza okutereka basobole okuganyulwa mu nkola y'emyooga ng'omu ku kawefube ow'okuyamba ku bantu okweggya mu bwavu.

Abamu ku bakukembeze abasomeseddwa enkola eno bagisanyukidde era ne beeyama  okukolera awamu mu kusitula omutindo gw'abantu be bakiikirira.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...