TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agabye ente 50 n'alangirira olutalo okutumbula ebyenfuna

Agabye ente 50 n'alangirira olutalo okutumbula ebyenfuna

Added 21st October 2020

Essaza lya Kiyinda Mityana lirangiridde kaweefube ow'enjawulo ow'okukulaakulanya abantu mu byenfuna n’ebyobulamu nga batandikira mu bulimi n’obulunzi.

Omusumba w'essaza lya Kiyinda Mityana Joseph Anthony Zziwa nga akwasa abamu ku batuuze ente omwabadde n'ab'enzikiriza ez'enjawulo. Babadde ku kigo e Mirembe Maria EKIF LUKE KAGIRI

Omusumba w'essaza lya Kiyinda Mityana Joseph Anthony Zziwa nga akwasa abamu ku batuuze ente omwabadde n'ab'enzikiriza ez'enjawulo. Babadde ku kigo e Mirembe Maria EKIF LUKE KAGIRI

Bya Luke Kagiri

Omusumba w'essaza lino Joseph Antony Zziwa, ye yalangiridde bino bwe yabadde akwasa abantu 50  ente zi Nusu bulaaya, ku kigo ky'e Mirembe Maria, ekiri mu disitulikiti y'e Kassanda.

Yagambye nti basookedde ku nte z'amata naye ekiseera kigenda kutuuka badde ku z'ennyama.

Ente zino zaavudde mu kitongole kya Klezia ekya Caritas nga zonna zaabadde Mawako.

Bp. Zziwa yagambye nti kaweefube ono agendereddwamu okuyamba abantu okwekulaakulanya mu byenfuna n'obulamu obwabulijjo.

Yakunze abatuuze balabire ku kikolwa ky'okuweebwa ente zino nga bonna bafunye awatali kusosola mu ddiini n'agamba nti bonna balina okubeera obumu n'okweyisa obulungi.

Fr. Simon Peter Kyambadde ku lw'ekitongole kya Caritas, yasabye abafunye ente bazirabirire bulungi, zisobole okubayamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....