TOP

Abaana ba Kafeero bakyeremye ku ky'okumuziikula

Added 21st October 2020

Abamu ku baana b'omugenzi Kafeero ku kkooti.

Abamu ku baana b'omugenzi Kafeero ku kkooti.

KKOOTI etawulula ensonga z'amaka e Makindye etandise okuwulira omusango gw'abaana 10 ab'omuyimbi Paul Kafeero, abaawawaabira bannaabwe nga babalumiriza okubeegaana ne bagabana n'ebyobugagga byabwe mu bukyamu.

Wabula omusango ogwawaabwa gwaggweeredde mu bya kuziikula Kafeero, ekyatabudde abehhanda ne badda gye baali bava mu by'okumuziikula. Abaana 10 abaawaaba kuliko; Martin Kafeero, Stella Namuli, John Mark Kafeero, Tony Kafeero ne Cate Nalukwago.

Waliwo abatannaweza myaka 18 ng'ekiwandiiko kyalaze nti okuwaaba baayambiddwaako kitaabwe waabwe omuto, Joseph Mugerwa nga ku bo kuliko Tracy Namuddu 15, Aaron Kafeero 16, Birungi Namugerwa Tina 15, Bridget Nalukwago 15, ne Joan Mirembe Nantongo.

Abawawaabirwa kuliko;Simon Kafeero (omusika Kafeero gwe yaleka, ali South Afrika), Thomas Kafeero Swazinigger, Elizabeth Nagawa ne Benedicto Kafeero.

Akola ku nsonga z'abafu baamugatta ku fayiro eno nga bamulanga kulemererwa kuluhhamya abaana n'abaleka okweyawulamu, ne batuuka n'okutandika eby'okweggyako omusaayi bakakase abaabwe n'abatali.

Abaawaaba tebaalabiseeko ate abawaawaabirwa kwalabiseeko Thomas Kafeero Swazinigger, Elizabeth Nagawa ne Benedicto Kafeero. Oluvannyuma lw'omusango, Swazinigger yategeezezza Bukedde nti omulamuzi yabalagidde batuule balabe oba batuuka ku kukkiriziganya ng'omusango tegunnatandika kuwulirwa.

Mu nkola ya kkooti, emisango nga gino egy'amaka n'abaana, esooka n'ewa enjuyi zombi akadde okukkiriziganya, bwe balemerera n'ewulira omusango. Baakudda nga November 11, babuulire kkooti ebinaaba bivudde mu kuteeseganya.
Kyokka abaana olwafulumye kkooti ne bawera nga bwe batajja kukkiriziganya na kya kuziikula kitaabwe.

Swazinigger agamba nti bo baganda b'omugenzi baagala baddemu baggye ku baana omusaayi bazuule aba ba Kafeeero, abo abatali babaweereze mu kika kyabwe. "Eby'okututwala mu kkooti byetooloolera ku byanfuna kubanga buli akirimu alowooza nti ajja kufuna ku by'omugenzi. Tetujja kukkiriza kumuziikula, wabula tufune omusaayi ku bamu ku benganda gwe guba gukozesebwa," bw'agamba.

Abubaker Nende, muganda wa Kafeero agamba nti abasawo baagaana omusaayi gw'omuntu omulala, ne yeebuuuza lwaki omusango ogwali ogw'okukumpanya ebintu bya bannaabwe ate ne gudda ku kuziikula Kafeero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...