TOP

Buchaman awaddeyo ebyambalo by'amagye

Added 21st October 2020

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo by’amagye bye yaggye ku bavubuka b’omu Ghetto n’akubiriza n’abalala okubiwaayo.

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab'ebyokwerinda ebyambalo by'amagye bye yaggye ku bavubuka b'omu Ghetto n'akubiriza n'abalala okubiwaayo.

Bino yabibakwasirizza mu maka ge agasangibwa e Makindye mu Kizungu ku Lwokubiri n'ategeeza nti kino akikoze okugondera ebiragiro by'ebitongole by'ebyokwerinda abaalagidde abantu baabulijjo okuwaayo ebyambalo by'ebitongole bye by'okwerinda bye balina.

Buchaman ne mukyala we nga bawaayo ebyambalo.

Yagasseeko nti agenda kutalaaga Ghetto ez'enjawulo omuli n'ey'e Kamwokya okukung'anya ebyambalo bino n'okubuulirira abavubuka okukuuma eddembe n'okwagala ensi yaabwe kuba bangi ababirina.

Bino byonna obwedda bigenda mu maaso ng'abavubuka obwedda abeeyita ba kamanda b'omu Ghetto abaabadde bakung'anye bwe bawaga n'okuleekaanira waggulu nti "obuvako bwamwe bubwo tubuleese naye ffe tukyali baakabi ate tuli bakyamu".

Ebyambalo bino omwabadde yunifoomu z'amagye, engatto, emisipi n'ebirala Buchaman yabikwasizza ttiimu y'abaserikale eyabadde ekulembeddwamu omuduumizi wa poliisi (RPC) mu Kampala South, James Ruhweza.

Ruhweza eyasoose okusiima Buchaman okuba omuwulize yasabye abantu baabulijjo abalala abalina ebyambalo bino okubiwaayo nti kubanga babirina mu bukyamu era anaakwatibwako waakuvunaanibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...