TOP

Poliisi n'amagye byetondedde Eklezia

Added 21st October 2020

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba ttiyaggaasi eyagootaanyizza emikolo ng'akulembedde mmisa ku mikolo ew'Omutaka Kayiira.

Abataka nga banaaba mu maaso olwa ttiyaggaasi.

IGP Okoth Ochola, yatumye AIGP Asan Kasigye ne boofiisa abalala okwabadde n'owa UPDF ne bagenda ow'Omusumba Kaggwa e Masaka ne bamwetondera. Omusumba Kaggwa baamusisinkanye n'Omusumba w'e Masaka aliko kati Serverus Jjumba.

Mu bubaka Ochola bwe yaweerezza yeebazizza Omusumba Kaggwa olw'okulaga eky'okulabirako ekirungi n'obukkakkamu bwe yayolesezza newankubadde nga poliisi y'ekitundu yakubye ttiyaggaasi eyasaasaanidde ku mukolo ne mu bantu abeetooloddewo, yasigadde akulembera omukolo mu bukkakkamu.

Olwomukaaga lwa wiiki ewedde, Omutaka Fredrick Kasibante Kayiira e Mugulu mu Ssingo yategese omukolo ogw'okwebaza Katonda olwa Kabaka okumusiima n'aweereza ng'omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka okumala emyaka mukaaga.

Aduumira poliisi e Mityana Alex Mwine Mukono yaduumidde abaserikale abaakubye ttiyaggaasi mu mmisa eyagumbuludde abantu abaabadde ku mukolo. Okukikola baasoose kutangira Bannabyabufuzi okutuuka ku mukolo guno kwe baabadde basuubira pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...