TOP

Ab'e Nama bawonye okusula mu nzikiza

Added 21st October 2020

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze ne bawona okusula mu nzikiza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Abatuuze mu ggombolola y'e Nama mu disitulikiti y'e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze ne bawona okusula mu nzikiza.

Omulimu guno gwatongozeddwa minisita omubeezi ow'eby'amazzi era omubaka wa Mukono North mu palamenti, Ronald Kibuule nga gwakuwemmenta obuwumbi 12. Kibuule yategeezezza nti amasannyalaze gano gaaweebwayo Pulezidenti Museveni ng'ayita mu kitongole kya Rural Electrification Agency -REA.

Ebyalo 36 bye bigenda okufuna amasannyalaze gano nga ku bino Mukono North gy'akiikirira erinako  24. Yagambye nti kino kigenda kwongera ku maanyi g'amasannyalaze ekiwa enkizo bamusigansimbi abatadde amakolero mu kitundu kino ekintu ky'agamba nti kigenda kwongera ku bungi bw'emirimu  naddala eri abavubuka.

Ensimbi ezaakoze omulimu guno zaavudde mu bbanka y'ensi yonna n'asaba abatuuze okukolagana obulungi n'abagenda okukola omulimu guno ogw'okubunyisa amasannyalaze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...