TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyeefudde agula essimu n'aginyaga bamukubye mizibu

Eyeefudde agula essimu n'aginyaga bamukubye mizibu

Added 21st October 2020

Bya Rosemary Nakaliri 

Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu kyokka ne bamaliriza nga babbye gye baabadde balamuza, ne bakwatako omu ne bamukuba katono bamutte.

Abavubuka bano kuliko; Steven Ssessanga,23 ne munne eyategeerekeseeko erya Kintu ng'ono yadduse. 

Abaserikale nga baddusa Sessanga okumuggya ku batuuze abaabadde bamukuba.

Okumukwata kyaddiridde nnyini dduuka okukuba enduulu bwe yalabye ng'omu adduka n'essimu gye yabadde alamuza olwo ne munne n'adduka kyokka abasuubuzi ne babagoba ne bakwata Ssessanga  gwe baakubye katono bamutte nga poliisi ye yamutaasizza.

Poliisi yatutte Ssessanga mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi bw'anaawona abayambeko mu kunoonyereza munne  eyadduse n'abalala b'akolagana nabo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...