TOP

Poliisi ekyalemedde omugagga Katumwa

Added 22nd October 2020

OMUGAGGA David Katumwa eyeesimbyewo ku bubaka bwa Palamenti obwa munisipaali y’e Nansana we bwawungeeredde eggulo ng'akyali mu kaduukulu ka Poliisi e Katwe gye baamuggalidde ku by’omwana agambibwa okubulira mu maka ge.

Omugagga Katumwa

Omugagga Katumwa

Katumwa yakwatiddwa ku Mmande ekiro okuva mu maka ge e Makindye mu Kizungu n'atwalibwa ku poliisi y'e Katwe gye bakyamukuumira n'okutuusa kati.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi ekyanoonyereza n'agattako nti essaawa 48 eziragirwa mu mateeka tezinnaggwako.

Owoyesigyire yagambye nti, omusango gwe bavunaana Katumwa gukyali gwa muwala ow'emyaka 17 agambibwa nti yabulira mu maka ge nga September 26, 2020 era okuva olwo taddangamu kulabika.

Yayongeddeko nti, omusango guno, etteeka likkiriza omuntu avunaanibwa okweyimirirwa ku kakalu ka poliisi n'agamba nti, bajja kumuta ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Ensonda ku poliisi e Katwe zaategeezezza nti Katumwa yabasabye bamukkirize okulanga ekifaananyi ky'omwana agambibwa okuba nga yabula mu mawulire abamulabyeko basobole okutegeeza poliisi.

Kyokka, Yasmin Ahmed 37, nnyina w'omwana eyabula era eyaloopa omusango gw'okubula kwa muwala we ku poliisi y'omu Kizungu e Makindye oguli ku ffayiro SD 11/26/09/2020 bwe yatuukiriddwa yagambye nti, ensonga za muwala we zikwata ku ye tayagala zigende mu mawulire kalibeere erinnya lye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.