TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyabaddewo nga Bobi Wine akyadde e Mmengo okusisinkana Mayiga

Ebyabaddewo nga Bobi Wine akyadde e Mmengo okusisinkana Mayiga

Added 22nd October 2020

KAABADDE katuubagiro nga munnabyabufuzi era omukulembeze w'ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu ng'atuuka e Bulange- Mmengo okusisinkana Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okumunnyonnyola enteekateeka z'alina eri eggwanga.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Robert Kyagulanyi Ssentamu akulira NUP wamu n'abakungu b'e Mmengo ne bannabyafuzi abaawerekeddeko Kyagulanyi nga beekubisa ekifaanyi ekyawamu

Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Robert Kyagulanyi Ssentamu akulira NUP wamu n'abakungu b'e Mmengo ne bannabyafuzi abaawerekeddeko Kyagulanyi nga beekubisa ekifaanyi ekyawamu

Emmotoka mweyatambulidde ekika escalade nga kuliko ekigambo GHETTO yatuuse ku wankaaki wa Bulange ku ssaawa mwenda n'ekitundu ez'emisana wakati mu ssanyu n'okuwaga okuva mu bawagizi be abaabadde bamuwereddeko naabeerawo eddakiika nga ssatu ng'abeebyokwerinda bagezaako okukugira ekibinja ky'abavubuka okuyingira naye okutuusa bweyayingidde era n'ayanirizibwa ku madaala ga Bulange omukungu David Ntege avunaanyizibwa ku kitongole ky'Obwakabaka e Mmengo.

Kyagulanyi yabadde ayambadde essuuti ya bbulu ng'asibye ettaayi emmyufu yayingidde kyokka mu kiseera ekyo abantu baabadde beeyongedde mu kizimbe Bulange.

Okuyingira ofiisi ya Katikkiro nakwo kwabadde kuzibu kuba eno waabadde wakkirizibwayo abantu batono era omubaka Francis Zaake Butebi baasoose kulagirwa  alindeko wadde yabadde ayagala okuyingira ne Kyagulanyi okutuusa Minisita w'obuwangwa e Mmengo David Kyewalabye Male lwe yamukimye naye n'agenda okwegatta mu kafubo Katikkiro keyabaddemu n'obukulembeze obw'oku ntikko obwa NUP ng'esisinkano yatutte essaawa nnamba.

Ku ssaawa 10:18 ez'olweggulo abalala abaabadde mu kafubo kano akatakkiriziddwamu bannamawulire, baakavuddemu ne bakalekamu Katikkiro Mayiga ne Kyagulanyi nga kano baakamazzeemu eddakiika ezisukka mu 15. Bye baayogeddeko byonna teri amanyi!

Okwogera okwa bonna kwategekeddwa mu bimuli bya Bulange era wano zaabadde ziweze ssaawa 10:38. Eyabadde kalabaalaba w'omukolo Kyewalabye Male yategeezezza Katikkiro nti " Mukama wange nnazzikuno musajja wa Kabaka bweyabeeranga agenda mu lutabaalo, yaloopanga embuga era nga bw'aloopa embuga, Kabaka ng'agaba Obugabe awo nno musajja we n'agenda atabaala n'awangula ebyalo n'awangula ebitundu. Nga tusinzira mu buwangwa bwaffe Muzzukkulu wa Kayiira Gajuule e Mugulu, azze Mukama wange kukwata kifo kya Bugabe era k'ajje awoze bw'anaatambuza olutabaalo."

Kyagulanyi olwakutte akazindaalo yasoose kulanya n'okwanjula beyayise nabo oluvannyuma n'ategeeza Katikkiro nti azze kutegeeza bantu ba Buganda b'abadde tannategeeza mu butongole nti ensonga zaabwe bazikwase KYAGULANYI.

"Mukadde wange nze ayimiridde mu maaso nzize okukutegeeza nti ng'enda kwesimbawo okukulembera eggwanga lino. Abantu ba Buganda ensonga zaabwe bwe banaazinkwasa bajja kuba tebatumye wabula nga beesitukidde," Kyagulanyi Ssentamu bwe yayogedde.

Pulezidenti wa NUP yakozesezza omukisa guno okutegeeza Bannayuganda bonna nti ekizibu kyabwe si Buganda wadde Katikkiro Mayiga wabula okusoomoozebwa kwabwe kuli ku butali bwenkanya era n'asaba waleme kubeerawo kwerumaaluma okusobola okutwala eggwanga mu maaso.

Yeebazizza Katikkiro olw'okukkiriza ne bakyala e Mmengo era n'amusaba aleme kulekeraawo okuwabulanga eggwanga buli wewabeerawo ekisoba.

 

Nga bamulindiridde n'amaddu mangi, Mayiga yasoose n'okulaga bwekiri ekirungi abavubuka abali ebitundu 70 ki buli 100 mu ggwanga okuvaayo okwenyigira mu by'obufuzi.

''Kirungi abantu abakyali mu myaka emimpi okwetanira obukulembeze. Abavubuka mu Uganda bali ebitundu 70 ku buli 100 n'olwekyo kirungi okwenyigira mu kuzimba eggwanga nga mwe bwemwesowoddeyo.

Kyokka obukulembeze tusaana okubugendamu nga tuzze n'enteekateeka eneeyanukula ebizibu ebyolekede eggwanga. Obukulembeze tebutegeeza kitiibwa, tebutegeeza ntebe nnene wabula kitegeeza kutema mpenda ezivvuunuka ebizibu n'olwekyo abeegwanyiza ebifo tubalinze okusalira ebizibu amagezi okugeza; ensonga za Buganda ssemasonga ettaano munaazikwata mutya, okutuusa obuweereza, ensonga z'okutyoboola amateeka n'ebirala," Mayiga bwe yategeezezza.

Mayiga yasabye bannabyabufuzi abakulu n'abato bayige  buli omu okugumiikiriza munne kubanga bonna Bannayuganda n'olwekyo nga tewali nsonga ereetaawo kaleegabikya era n'asaba buli luuyi luweebwe kyenkanyi ku mikutu gy'amawulire n'ebirala ebibayamba okutuuka mu balonzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...