TOP
  • Home
  • Amawulire
  • By'olina okukola okweyagalira mu nnyumba enfunda

By'olina okukola okweyagalira mu nnyumba enfunda

Added 22nd October 2020

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina. Kino abasinga bakikola olw'obufunda bw'ensawo ezitabasobozesa kupangisa nnyumba nnene oba okuzimba.

Abamu basula mu kisenge kimu nga bateekawo kateni okwawula eddiiro ne we basula. Ate abalala basula mu zirimu eddiiro n'ekisenge n'abandi okusula mu nnene okuli eddiiro, ebisenge bibiri, ekinaabiro, effumbiro ne kaabuyonjo kyokka ng'era oluusi zino ziba ntono okusinziira ku famire.

Asula awafunda abaana oyinza okubagulira ebitanda bya ddeeka.

 

Ennyumba zino b'ozirabirira obulungi nga weeyambisa abakugu ennyumba gy'oyita entono oyinza okubaako ky'ogikola n'erabikanga ennene olw'obuyiiya.

Ewaffe twagobayo abagenyi                                                                                         

Edith Namusoke ne bba James Lutalo ab'e Kajjansi mu myaka esatu tebakkiriza bagenyi kubakyalira. Mu kusooka baali bapangisa ennyumba ennene ng'obulamu bweyagaza kyokka omusajja omulimu bwe gwamuggwaako embeera n'etabuka. Baasenguka ne badda mu nju ey'ekisenge n'eddiiro ng'ate balina abaana.

Bafuba okulaba nga bagirongoosa n'okugitegeka kyokka tesanyusa era buli abakubira okubakyalira tebamuwa mukisa. Ebisenge byonna bijjudde ebintu gyobeera nti basula mu sitoowa. Kati omusajja ali mu kuyigga mulimu okulaba ng'addamu okukola afune ku bulamu obweyagaza oluvannyuma lw'omulimu okumuggwaako mu biseera by'omu ggalo gwa Covid 19.

Ying. Jjuuko awabudde

 Ying. Fred Jjuuko owa Jjuuko Construction Uganda Ltd agamba abantu abazimba ennyumba zino bazizimba lwa bufunda bwa nsawo, abalala poloti zibeera ntono n'abamu bakozi ba ssente nga gyakoma okuba n'emizigo emingi ne ssente z'afuna mu bapangisa.

l. Agamba nti abantu abalina poloti entono bandibadde bayiiya ne bazimba ennyumba za kalina kubanga eno etuula mu kifo kitono nga wansi bwe wabeera awatono weegazaanyiza waggulu.

2.Abalina okutya nti kalina za bagagga si kituufu kubanga osobola okusooka okumaliriza wansi n'oyingira ebirala n'obikola mpolampola okutuusa lweggwa bulungi.

3. Kyokka agamba nti okutuuka ku kino wabeerawo okusoomoozebwa ng'omuntu alina okuba omuyiiya ennyo okufuna ky'ayagala.

ENGERI GY'OTEGEKA ENNYUMBA ENTONO N'ERABIKANGA ENNENEl Nga tonnaba kulowooza ku ky'akumenya nnyumba yo ogaziye ebisenge, waliwo ebintu by'oyinza okukola oba okukyusa mu nnyumba yo n'erabikanga ennene. Wabula kino olina okukikola ng'oyambibwako omukugu mu by'okutegeka ennyumba. 

Kyokka ne bw'oba tokozesezza mukugu naawe osobola okukozesa obuyiiya n'otegeka bulungi ennyumba yo nga Martin Muzaaya omukugu  mu by'okutegeka ennyumba okuva mu kkampuni emu mu Kiyembe bwannyonnyola.

l. Omuntu alina ennyumba entono yandibadde afuba okukendeeza ku mujjuzo gw'ebintu mu nnyumba. Wano tolina kutereka bintu by'otakozesa. Buli lw'obigaba oba okubisuula obeera weeyongera okugaziwa.

2.Eyazimba akayumba akatono oba apangisa ng'ayinza okulwawo okufuna ssente ezizimba yandibadde azaala abaana batono. Gye bakoma okubeera abangi n'ebyetaago ng'ebitanda ng'ate ng'olina okufuna w'obiteeka.

EKISENGE                                                                                                             1.l Bw'oba ogula ebitanda by'abaana wandibadde ofuna bya ddeeka. Kino kitegeeza nti bw'oba olina abaana babiri, omu asula wansi, omulala wakati ate waggulu n'oterekayo ebintu nga kkeesi.

l. Ekitanda ky'abakulu kyandibadde kitonotono n'ofuna w'oteeka ebintu ebirala. Ekisenge bwe kikwatirira ennyo ng'empewo teyingira bulungi kiyinza okuwunya olusu.

2.Olina okugula wooduloopu mwoteeka engoye n'engatto ng'omaze okubirongoosa okusinga okuziteeka ku miguwa ne zisaasaanira ekisenge kyonna. Waliwo ez'omulembe ezibeerako endabirwamu nga tekikwetaagisa kugula ndala ate endala nga bazizimbira mu bisenge.

3. Funa ekisero oba baketi mw'otereka engoye eziddugala weewale okumala gazisuula buli w'osanze.

4. Weewale okuteeka kateni eza langi enkwafu mu madirisa obutaleeta enzikiza mu nnyumba. Ate emisana fuba okulaba ng'oziggula.

5.  Fuba okulaba ng'okozesa langi ezaaka mu kisenge kyo ate ofeeyo okuzikwasaganya n'ebintu b'okozesa. Mu zino kuliko: enjeru, kyenvu, bbulu, kipaapaali ne kacungwa.

6. Olina okukozesa amataala agakola ekitangaala ky'obutonde n'ebifaananyi ebiraga obutonde bw'ensi.

 

EDDIIRO                                                                                                                          1.  Kozesa entebe entonotono ezitwala ekifo ekitono ate ng'osobola okuzikyusa ne zikola ebintu ebirala okugeza obuliri oba okuzigaziya okusinziira ku bwetaavu.Mukiibi agamba nti wandibadde oteeka endabirwamu mu nnyumba. Zino bw'ozitunulamu olaba ng'ekisenge tekikoma n'olabanga ali awagazi.

2. Weewale okukozesa ebibajje ebinene mu nnyumba. Funa obutebe n'obumeeza obutonotono eddiiro lisigale nga lyetaaya.

3. Funa ebintu ebikwatagana ne langi y'oku bisenge ne kisobozesa amaaso okutambula okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala.

4. Amadirisa galeke nga geetadde bulungi okozese ne kateni ezitangaala n'okukkirizisa empewo okuyingira obulungi.

5. Kozesa dayiningi entono gyosobola okukyusa okukola ebintu eby'enjwulo okugeza ssinga eba esobola okuzingwako n'okola ebintu ebirala kiba kirungi nnyo.

EFFUMBIRO                                                                                                                                                                                                                      Ebintu byonna ebyeyambisibwa mu kufumba birina kubeera mu ffumbiro era nga buli kimu kirina okubeera mu kifo kyakyo okwanguyizaako omuntu afumba. Efumbiro ery'omulembe libeeramu amasa waggulu omuterekebwa ebintu ne bitajjula wansi.

EKINAABIRO                                                                                                                                                                                                                     Ggwe alina ennyumba entono, ekinaabiro mwe wanditadde ne kaabuyonjo ey'ekinnya. Ate tekirina kubeera tterekero lya bintu ng'engoye eziddugala, bbaafu n'ebidomola. Ekinaabiro kirina okuyonjebwa buli lw'omala okukikozesa n'okuggula eddirisa. Bw'ogireka kyetadde ne bwe kiba kitono kitya oyinza okukiraba ng'ekinene. Olina okukiyonja obulungi obutawunyisa nnyumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...