TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Sarah Kanyike munyiivu lwa disitulikiti ezitawaddeeyo bibiina kufuna ku za balema

Minisita Sarah Kanyike munyiivu lwa disitulikiti ezitawaddeeyo bibiina kufuna ku za balema

Added 22nd October 2020

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera ddala okulemerererwa okukola ebibiina by’abalema biweeeyo okusaba bisobole okufuna ensimbi ez’okubiyambako okutandikawo emirimu b’eggye mu bwavu.

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Kanyike yagambye nti gavumenti omwaka gw'eby'ensimbi guno yataddewo obuwumbi bw'ensimbi 5 zigabirwe abalema abeekozeemu ebibiina ebiri wakati w'abantu 5-10 nga buli kimu kifuna ensimbi obukadde butaano kyokka disitulikiti nnyingi tezinnateekayo kusaba kwazo.

Ensimbi zino ziri mu nteekateeka emanyiddwa nga National Special Grant Program ng'eri wansi wa minisitule y'ekikula ky'abantu.

Kanyike obutali bumativu buno yabulagidde Mukono bwe yabadde alambula ebibiina by'abalema ebyaweebwa ensimbi ne bibaako pulojekiti ze bitandikawo emirimu egy'enjawulo.

Akola nga kamisona w'abakadde n'abalema, Emily Ajiambo yagambye nti disitulikiti 45 zokka ku disitulikiti nga 135 ze zaakawaayo ebibiina mu nteekateeka eno mu mwaka gw'eby'ensimbi oguwedde ne guno gwe tulimu wadde nga zo ssente weeziri.

Ajiambo yanokoddeyo ezimu ku disitulikiti zino omuli; Kampala, Butalejja, Namayingo, Buikwe, Omoro Ajumani, Lamwo ne Entebe munisipaali. Endala kuliko; Kalangala, Kayunga, Zombo, Buvuma, Nebbi, Pakwachi ne Kalungu.

Minisita Kanyike yalaze okunyolwa okulaba ng'ensimbi ziri mu ggwanika lya gavumenti zifa tulo kyokka abalema bali mu byalo obwavu bubula okubatta.

"Enkola eyo mbi nnyo oy'obwassemugayaavu eri abakozi baffe aba gavumenti abalina okusomesa abantu baabulijjo ku nteekateeka nga zino n'okubalungamya ku butya bwe bayinza okufuna mu mbeera nga zino.

Ekyakabi kwe kuba nti oyita mu byalo ng'abantu beekyaye boogerera bubi gavumenti ne pulezidenti Museveni sso nga ye ogugwe yagukola n'ensimbi ziri awo za bwereere si za zaakuzzaayo naye ng'abalina okutegeeza abantu ku birungi nga bino tebakoze gyabwe ensimbi z'emisaala bafuna za bwereere," bwe yategeezezza.

Yasabye abakulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti okulagira abakola ku mbeera z'abantu okuvaayo amangu ennyo balambike abaliko obulemu beekolemu ebibiina olwo basobole okuweebwa ensimbi zino.

Kkamisona Ajiambo yagambye nti baasazeewo okugenda n'abagenda batandike okuwa ebibiina ebyabasaba ensimbi mu disitulikiti ne ze baawaako edda kuba tekigenda kuyamba ate ensimbi zino okuddizibwayo sso nga zandigabiddwa ne zigwayo olwo abantu ne bava mu bwavu gavumenti n'ebongera endala.

Minisita yalambudde ebibiina okuli Namawojjolo Disability Group ekisangibwa mu ggombolola y'e Nama ekirunda enkoko ez'ennyama, Bukasa Disability Group ekisangibwa mu ggombolola y'e Nakisunga ekirunda embizzi, Hands of Mercy PWDs ekisangibwa e Nassuuti mu munisipaali y'e Mukono ekitunga engatto ne Mercy Parents Bukeerere ekisangibwa mu divizoni y'e Goma mu munisipaali y'e Mukono ekipangisa weema n'obutebe.

Bakkansala b'abalema okuli Ramathan Lubowa ow'abaami ku munisipaali ne Abdu Nsubuga baategeezezza nti ebibiina bingi ebyawaayo okusaba kwabyo okuweebwa ensimbi zino wabula nga bitono nnyo ebyakazifunako.

Bano baategeezezza nti ku bibiina 38 okuva mu munisipaali y'e Mukono ebyasaba, 5 byokka bye byakafuna ssso ng'ate ebibiina 49 ebya disitulikiti bye byasaba nga 12 byokka bye byakafuna.

Mu kwanukula, Minisita Kanyike yagambye nti olw'omuggalo gwa COVID 19, gye buvuddeko waliwo ebibiina nga ssente zaabyo zaali ziteekeddwa ku akawunti zaabwe wabula ne ziddayo nga bakola ekisoboka okulongoosa obizibu buno nga wiiki ejja n'ebyo bigenda kuba bifuna ssente zaabyo batandike emirimu.

Ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono Andrew Ssenyonga ne meeya w'ekibuga George Fred Kagimu baasiimye gavumenti olw'okujjukira abaliko obulemu nabo ne babawa ensimbi babeeko emirimu gye beetandikirawo bave mu kusabiriza nga n'ekirungi ekiziwo kwe kuba nga zino si zaakuzzaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...