TOP

Paasita Yiga Mbizzaayo assizza ku byuma

Added 23rd October 2020

Paasita Augustine Yiga Mbizzaayo ow'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala asizza ku byuma!

Augustine Yiga lwe yali mu kkomera e Kitalya ku misango gy'okuwakanya nti obulwadde bwa Corona Virus tebuliiyo

Augustine Yiga lwe yali mu kkomera e Kitalya ku misango gy'okuwakanya nti obulwadde bwa Corona Virus tebuliiyo

Yiga yasoose kunafuwa olw'obulwadde obumutawaanya era abaabadde bamuggye mu ddwaaliro e Nsambya wiiki ewedde ne baamuzzaayo ku Lwomukaaga ng'ali bubi. 

Ku kkanisa ya Yiga e Kawaala, abagoberezi bakyamusabira butaweera Katonda amussuuse addemu buto okubasumba.

Abamu ku be twayogeddeko nabo abataayadde kwatuukiriza mannya baagambye nti okuva lwe yakomawo okuva e South Afrika, abadde mugonvu nga bw'atereeramu katono ate n'addamu okunafuwa. 

Kigambibwa nti alumizibwa bulwadde bwa kibumba ne puleesa. Mu ddwaaliro e Nsambya, yasooka kumalayo ennaku 4 gye baamuggya okumutwala mu maka g'e e Lubaga w'abadde amaze wiiki bbiri ng'akyajjanjabirwa

Wabula kigambibwa nti ku nkomerero ya wiiki ewedde yazzeemu okutabuka era omusawo n'alagira atwalibwe mu ddwaaliro abantu we batamutuukirako kumwogeza. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...