TOP

Poliisi ewadde gwe yakuba emitwalo 80

Added 23rd October 2020

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Abaserikale nga bakwasa omukadde ssente.

Mu katambi, ofiisa wa poliisi AIP Samuel Okiror (oluvannyuma eyafa nga wayise wiiki bbiri ng'amaze okukuba omukadde) yalabibwa ng'alumba omukadde Grace Asio 75 ow'e Doko, Namatala mu Mbale eyali ku mabbali g'ekkubo n'amukuba embooko.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Okoth Ochola ye yawadde ekiragiro abaserikale okunoonya omukadde bamwetondere nga tannafuna bannamateeka okukuba Poliisi mu mbuga kubanga obujulizi weebuli.

Yabatisse ne kkavu wa mitwalo 50 n'ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo bya mitwalo 30 ne babimutwalira.

Asio ayogera engeri gye yakubwa. Olunaku lwe sigenda kwerabira lwa July 2, 2020, Mbale lwe yasuumusibwa okufuuka City. Nnali nva ku dduuka kugula bintu ne nsanga poliisi nga egobagana n'abawagizi ba Lydia Wanyoto abaali bajaganya olwa Mbale okufuuka City.

Nnali ku mabbali w'oluguudo ngenda omuserikale omunene ng'annumba n'atandika okunkuba kibooko.

Omuserikale ng'akuba omukadde kibooko.

Ku myaka gino omwana gwe ntuuse n'okuzaala yankaabya amaziga kyokka ng'abalala batunula butunuzi. Yankuba mu kifuba era naggyamu obulwadde n'amagumba gano ag'ekikadde gannuma.

Wabula nsanyuse abaserikale okujja nga bannoonya okunneetondera. Omutima gubasonyiye naye ate kinkoze bubi nnyo nti eyankuba yafa. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon, ASP Rogers Tayitika yagambye nti poliisi nabo kyabaluma okulaba nga munnansi ali ku myaka egyo atulugunyizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...