TOP
  • Home
  • Amawulire
  • OC asse omutuuze e Lugala - Masanafu ne bitabuka

OC asse omutuuze e Lugala - Masanafu ne bitabuka

Added 23rd October 2020

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n’afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola ku Lwokusatu. Omukazi yasoose kulumiriza muserikale wa poliisi Sgt. Odongo nti ye yamusobezzaako. Odongo akolera ku poliisi y’e Lugala-Masanafu mu Lubaga.

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n'afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola ku Lwokusatu.  Omukazi yasoose kulumiriza muserikale wa poliisi Sgt. Odongo nti ye yamusobezzaako. Odongo akolera ku poliisi y'e Lugala-Masanafu mu Lubaga.

Abatuuze nga bakungubagira munnaabwe.

DPC wa poliisi ya Old Kampala, Edrisa Kyeyune yalagidde Odongo n'akwatibwa n'aggalirwa ku Lwokusatu.  Omukazi (amannya galekeddwa) yatutte poliisi n'agiraga gye yayise okuva awaka okutuuka we baamusoberezzaako. Omukazi bye yannyonnyodde, poliisi n'ezuula ng'ebigambo bye biggyayo kifaananyi kya Odongo. Kwe kumukwata. 

KKAMERA EZUULA EBIRALA                                                                                                                                                                                    Kyokka poliisi bwe yakebedde kkamera zaayo n'endala ezikozesebwa abatuuze mu kitundu n'ezuula ng'omusajja ateeberezebwa okukaka omukwano omukazi ono mulala si Odongo. Ekifaananyi kye baafunye kyabadde kisonga ku Sharif Mbayo 35, omukuumi ku galagi emu mu kitundu. 

Poliisi ya Old Kampala yalagidde OC w'e Lugala ayitibwa Maswele agende akwate Mbayo. Nga busaasaana eggulo, Maswele yagenze n'abaserikale basatu okukwata Mbayo. Baamusanze w'akolera kyokka olwabalabye n'adduka. Maswele yakubye amasasi mu bbanga ng'akozesa pisito olwo Mbayo n'ayimirira. Olwo yabadde atuuse mu maka g'omutuuze Susan Nabukeera.  Maswale agamba nti bwe yabadde akwata Mbayo, olwo Mbayo n'akwata pisito ne batandika okwenyoola.

Beevulunze mu ttaka era OC olwasituse n'akuba Mbayo essasi mu kifuba ku ludda olwa kkono n'afiirawo.  Olutalo wakati wa OC ne Mbayo lwatutte akaseera. Kyokka abaserikale abasatu abaabadde ne OC tebaataasizza. Bonsatule ne OC baakwatiddwa ne bagattibwa ku Odongo eyasoose okukwatibwa. 

Odongo eyakwatiddwa.
Odongo eyakwatiddwa.

Okutta Mbayo kyatabudde abatuuze abaabadde ne mukazi we Jackie Nakaweesa gw'alinamu abaana bana. Nga bagamba nti poliisi okutta Mbayo yabadde ebikkirira muserikale waayo Odongo.  Nakaweesa olwatuuse yagudde ku mulambo gwa bba n'agezaako okugukyusa wakati mu miranga n'okwaziirana ng'awanjaga: omwami wange bakuttidde ki? Abaana bange ani anaabalabirira? 

Abatuuze baamwegasseeko nga bagamba nti Mbayo amaze mu kitundu emyaka ebiri. Okujja e Masanafu yava Kakiri. Aba LC baamulondoola ne bazuula nga talina mutawaana gwonna.  Bawolereza Mbayo era bamugaanira ku by'okusobya ku mukazi. Ssentebe wa LC1, Gonzaga Kabuye agamba nti tebayinza kumatira bya kutta munnaabwe okuggyako nga wassiddwaawo okunoonyereza okutuuka ku kituufu.

Era n'abatuuze ne balabako ku bujulizi obwo.  Jackie Nakaweesa agamba nti bba abadde muntu w'abantu. Tanywa biragalalagala wadde omwenge. Aludde ng'akola ogw'obukuumi tawulirwangako muze gwonna. Era bw'aba nga yasobezza ku mukazi lwaki ate baamukubye amasasi? Abatuuze tebamatidde kunnyonnyola kwa OC Maswele.

Bagamba nti OC omusajja omutendeke ng'ali n'abaserikale basatu abalina emmundu, tewali ngeri Mbayo gye yandibalwanyisizza kutuuka kumukuba masasi. Wano we bava okulumiriza nti okumutta kyabadde kigenderere okubikkirira ebikolobero bya poliisi.

ENGERI GYE BAAMUSOBEZZAAKO                                                                                                                                                                         Omukazi alumiriza okumusobyako yakedde ku ssaawa 10:00 ez'ekiro okugenda e Lubaga ku Mackay Lane gy'afumbira emmere. Asula kumpi n'ekkanisa ya Imelda Namutebi e Lugala. Agamba yabadde anaatera okutuuka ku kubo n'alengera abasajja abaabadde bambadde ebikooti ne magetisi n'alowooza nti baserikale abalawauna ekyalo. 

Bwe yabasemberedde omusajja gw'alowooza nti ye yabadde mukama waabwe yamubuuzizza gy'ava ne gy'alaga. Yabadde akankana ng'atidde olwo eyamusobezzaako kwe kulagira banne abataano bagende nti "ye ajja kumaliriza ensonga zange".  Abantu abataano baayambuse badda ku poliisi e Lugala.

"Omusajja yankutte ku mukono n'annyambusa okutuuka ku ddwaaliro lya St. Luke e Lugala ne tuyita mu lukuubo oluyita ku ddwaaliro ne tukkirira gye lukoma. Eno gye yankakidde omukwano", bwe yannyonnyodde. N'agamba nti oluvannyuma omusajja yamugambye agende. 

Omukazi yakubidde essimu mukama we (amannya galekeddwa) eyayongeddeyo ensonga ku poliisi Old Kampala. Poliisi yatutte omukazi mu ddwaaliro lya Pearl Medical Centre ku Lubaga Road ne bamukebera. Baamututte ne mu ddwaaliro ne bamuwa empeke eziziyiza okukwatibwa siriimu. 

Odongo naye yakebeddwa. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti,bwe beetegerezza obutambi obwakwatiddwa kkamera, baakizudde ng'omusajja ateeberezebwa okukwata omukazi yabadde Mbayo. Kyokka okukwata OC nkola ya poliisi asse omuntu ateekwa okukwatibwa ng'okunoonyereza kugenda mu maaso. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....