TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA ewaddeyo ekitundu kya Centenary Park eri UNRA

KCCA ewaddeyo ekitundu kya Centenary Park eri UNRA

Added 23rd October 2020

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ennguudo ekya UNRA okuzimbawo oluguudo.

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'ennguudo ekya UNRA okuzimbawo oluguudo. 

Okusinziira ku Nankulu wa KCCA, Dorothy Kisaka, ekitundu ekiweereddwa UNRA kigenda kukozesebwa okuzimbamu oluguudo lw'omu bbanga kiyambe okukendeeza omugotteko gw'ebidduka mu kibuga.  Kisaka eyabadde awerekeddwako omumyuka we, Ying. David Luyimbaazi, yagasseeko nti musanyufu okulaba nga basobodde okuwaayo ekibangirizi kino awatali kusika muguwa nga bwe kyali mu kusooka. 

Kisaka (ku kkono) ng'aliko by'agamba Sarah Kizito.

 

Akulira okuteekesa mu nkola mu kitongole kya UNRA-John Bosco Ssejjemba, ye yakiiridde Allen Kagina, akulira ekitongole kino.  Ssejjemba yagambye nti pulojekiti eno yatandikira ku Ssaawa ya Kwiini, wabula ng'enkalu ebadde ku Centenary Park, olw'enkaayana ezibaddewo wakati w'abalinawo bizinensi ne KCCA kyokka nga kati egenda kugenda mu maaso kinnawadda. 

Ng'oggyeeko Centenary Park, pulojekiti y'okuzimba oluguudo luno esuubira n'okutwaliramu ebizimbe awali ekitebe ky'akakiiko k'ebyokulonda, ekiriraanyewo.  Mu ngeri eyenjawulo, Sarah Kizito, nnannyini kizimbe kya Lady's Charlotte, omu ku bazze balemesa enteekateeka z'okutwala ekifo kino, yabaddewo nga KCCA ekikwasa UNRA era n'ategeeza nti bakkaanyizza tewali abanja munne. 

Wabula teyategeezezza oba waliwo ssente ezamusasuddwa mu nzikiriziganya gye baatuuseeko kubanga kigambibwa nti ekizimbe kye ky'ekimu kw'ebyo ebiyinza okukosebwa nga okuzimba kutandise.  Bba Godfrey Nyakaana, yategeezezza Bukedde, nti yiika bbiri zokka ze zigenda okukosebwa wabula si kitundu kyonna ekya Centenary Park ng'abantu abamu bwe babadde balowooza. 

Kkampuni ya Nnalongo Estates, ekulirwa Nyakaana ne mukazi we Sarah Kizito, baaweebwa liizi ku ttaka lya Centenary Paaka era nga babadde bamaze ebbanga nga bagugulana ne KCCA eyali eyagala okumenyawo ekizimbe kyabwe kye bagamba nti baakizimba mu nsobi kubanga liizi yali ekirambika bulungi nti ebizimbe ebirina okuzimbibwa mu kibangirizi kino tebirina kuba byabuwangaazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...