TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusomesa eyakubiddwa ttiyaggaasi mu liiso alaajanye

Omusomesa eyakubiddwa ttiyaggaasi mu liiso alaajanye

Added 23rd October 2020

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako n’etamuyamba. Ono baamumukubidde kumpi ne Bulange e Mmengo omubaka wa Kyadondo East era omukulembeze wa NUP bwe yabadde agenze okukyalira Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ku Lwokusatu.

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n'akukkulumira poliisi olw'obuvune bwe yamutuusizzaako n'etamuyamba. Ono baamumukubidde kumpi ne Bulange e Mmengo omubaka wa Kyadondo East era omukulembeze wa NUP bwe yabadde agenze okukyalira Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ku Lwokusatu.

Fazib Chandiru 23, omutuuze w'e Bakuli asomesa ku ssomero lya Jerusalem Nursery e Lugazi. Yagambye nti yali waka we waapangisa  ku ssaawa 11:00 nga BobI Wine ava e Mmengo wakati mu poliisi okugobagana n'abawagizi be n'okubakubamu ttiyaggaasi akakabe ne kagwa mu maaso ge we kaayabikira ne kamukuba mu liiso erya kkono.

Ng'ayambibwako baliraanwa, yatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago gye baamuweeredde obujjanjabi obusookerwako n'oluvannyuma ne bamusindika e Mengo awali abasawo b'amaaso abakugu kyokka nayo ne bamugobayo olw'obutaba na ssente.

Ku Lwokutaano baamuzizzaayo e Mulago ne bamulongoosa eriiso n'oluvannyuma n'addayo mu kazigo ke gyapoocera. Omu ku booluganda yategeezezza nti abasawo baabategeezezza ng'omuntu waabwe bwayinza okugibwamu eriiso lino ng'ate ne ssente zibeekubya mpi.

Basabye omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola okuyingira mu nsonga ze afune obujjanjabi kuba teyali mu kwekalakaasa nga ttiyaggaasi yamusanga waka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...