TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali omwogezi wa Poliisi awonye okugwa mu masiga

Eyali omwogezi wa Poliisi awonye okugwa mu masiga

Added 25th October 2020

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe Deborah Ajiambo Ayinza e Kyabakadde mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono.

Kangave ne Deborah nga bamema

Kangave ne Deborah nga bamema

Kangave nga mu kiseera kino akolera ku kitebe kya Poliisi e Naguru ayanjuddwa mu maka g'omuwandiisi w'obulabirizi bw'e Mukono, Rev. Canon John Ssebudde.

Emikolo gino gyetabiddwako omulabirizi w'e Mukono eyawummula, Bp. Eria Paul Luzinda Kizito, bassaabadiikoni ab'enjawulo omuli, ow'e Ndeeba, Edward Balamaze, David Mpagi ow'e Seeta, Ven. Godfrey Ssengendo ow'e Nassuuti, Provost wa Lutikko y'e Mukono, Rev. Canon Enos Kitto Kagodo, n'abalala.

Abagenyi abalala abataalutumiddwa mwana kuliko, meeya w'ekibuga Mukono, George Fred Kagimu, ssenkulu w'ekitongole ekirwanirizi eky'eddembe ly'obuntu ekya Foundation for Human Right Initiative, Dr. Livingstone Ssewanyana, eyaliko omuwanika w'e Mengo, Eva Nagawa, n'abalala.  

ku mukolo ogubaddeko abantu abagere olw'embeera y'ekirwadde kya COVID 19 nga babadde balina okugoberera ebiragiro bya minisitule y'eby'obulamu.

Ye Kangave awerekeddwako ab'apoliisi okuli; SSP Zuhura Ganyana okuva ku kitebe kya poliisi e Nagguru, ne ASP James Ofono naye akolera ku kitebe kya poliisi e Naguru.

Abalala kuliko; Moses Ssemakula akolera mu yunivasite e Makerere, Rev. Esmond Sserunjogi, Ying. Musa Ssegabwe, Haji Yakub Bazaala akola mu bank of Uganda, Stewart Mukiibi okuva mu yunivasite e Makerere n'abalala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.