TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyanoba emyaka 30 akomyewo alemese embaga ya bba

Eyanoba emyaka 30 akomyewo alemese embaga ya bba

Added 26th October 2020

MARY Norah Baseka baamukuba embaga mu 1981. Yatabuka ne bba n’anoba kati emyaka 30 egiyise. Wabula bwe yawulidde nga bba agenda kukuba mbaga ndala n’aggyayo ebbaluwa kwe baabagattira n’ayolekera Eklezia okulinnya eggere mu mukolo.

Ekimu ku bizimbe by’omugagga. Mu katono ye Baseka ne Kisige

Ekimu ku bizimbe by’omugagga. Mu katono ye Baseka ne Kisige





Ebirango by'embaga ya Martin Kisige Tibalira ne Proscovia Nabirye byatandise mu Klezia ya Our Lady of Fatima mu kibuga Jinja. Embaga ya mwezi gujja. Kisige musuubuzi mututumufu mu Jinja mw'alina n'ebizimbe.

Norah Baseka abeera e Nabitende mu disitulikiti y'e Iganga yategeezezza Bukedde nti, Kisige yamukwana mu 1978 ne babeera mu mukwano era n'amuzaalira omwana asooka mu 1980. Baagattibwa nga March 28, 1981 mu Klezia ya Our Lady & All Soul Catholic Church, Budini.

Eyabagatta ye Rev. Fr. Sylvester Mudago. Agamba nti mu kiseera ekyo Kisige yali tannafuna ku ssente era maama wa Baseka, Margret Batyakunaga ye yabawa ssente ezaayamba Kisige okupangisa omudaala mu katale e Jinja. Ku mudaala ogwo ne ssente za nnyazaala we, Kisige kwe yalandira okufuuka omusuubuzi ow'amaanyi.

Baseka agamba nti mu 1982, baazaala omwana omulala era kwe baakoma. Kisige mu kiseera ekyo omulimu gwe omukulu gwali gwa busomesa mu pulayimale e Mwiri.

Omudaala yali bizinensi eyatandikibwa okubayambako mu bya ssente. "Baze yatandika okukyuka nga buli kiseera ayomba n'okunkuba. Nnanoonyereza ne nzuula nga yali afunyeyo omukazi omulala gwe nnamanya nga ye Proscovia Nabirye" bwe yategeezezza Bukedde.

Agamba nti, "nnafuna olubuto olwokusatu wabula Kisige yansamba olubuto ne luvaamu ne bantwala mu ddwaaliro era bwe nnavaayo ne nzirayo eyaffe e Nabitende ntaase obulamu bwange.

Ewaffe nnaddayo mu 1985 ekyawa Kizige oluwenda okuleeta Nabirye awaka okutuusa kati lwe basazeewo okutukuza obufumbo bwabwe. Baakoze enteekateeka z'embaga ne batandika okubalanga mu Eklezia.

Waliwo abaatwalidde Baseka amawulire n'ajja ng'agamba nti, wadde tabeera na Kisige kyokka ye mukazi we ow'empeta era Kisige tayinza kuwasa mukazi mulala. Agamba nti bwe yamanya eby'embaga yatuukirira Kisige boogeremu n'agaana.

Ensonga zaatwalibwa mu kkooti ya Eklezia n'ebatuuza. Alumiriza nti Rev. Fr. Vincent Ndada yawandiika ebyayogerwa n'abissa mu bbaluwa gye yawandiikidde Omusumba w'e Jinja Rt. Rev. Fr. Charles Wamika nga October 15, 2020 ng'awabula obutakkiriza mbaga eno kugenda mu maaso.

Mu bbaluwa ya Fr. Ndada, Bukedde gye yalabyeko agamba nti, teri kintu kiyinza kusazaamu bufumbo butukuvu okusinziira ku nsomesa ya Ekelezia okuggyako okufa nga kwe kwawukanyizza abafumbo.

Kyokka Bukedde teyafunye Fr. Ndaba kwogera ku nsonga eno. Kyategeezeddwa nti Kisige yasooka kugenda mu kkooti n'asaba okwawukana ne Baseka ng'agamba nti Baseka yazaala abaana ebbali, okuyomba n'okumuswaza n'amuweebuula. Kyokka Bukedde teyafunye nsala ya kkooti.

BASEKA YAKKIRIZZA NTI KITUUFU ALINA ABAANA BE YAZAALA EBBALI

Baseka ng'ayita mu bannamateeka be aba Kigozi and Patners Advocates yawandiise ebbaluwa eyeemulugunya ku mbaga eteekebwatekebwa.

Zino yazitutte ku klezia ya St. Fatima ekulirwa Fr. Paul Wandera Okello etekateeka omukolo, ew'omusumba wa Jinja Rt. Rev. Fr. Charles Wamika n'ewa bba we Tibalira wabula bonna baganye okuzikwata.

Wadde ng'embaga endala ezirangibwa mu kirango ky'eklezia kuliko ennaku z'omwezi z'emikolo, embaga ya Kisige Tibalira Martin ne Nabirye Proscovia yo teragibwa nnaku za mwezi lw'egenda kubaawo. Bw'atuukiriddwa ku ssimu ku nsonga eno, Omugagga Kisige ategeezezza nti, omukyala Baseka akyadaagana nnyo ku nsonga 

MARY Norah Baseka baamukuba
embaga mu 1981. Yatabuka ne
bba n'anoba kati emyaka 30
egiyise.
Wabula bwe yawulidde nga
bba agenda kukuba mbaga ndala
n'aggyayo ebbaluwa kwe baabagattira
n'ayolekera Eklezia okulinnya
eggere mu mukolo.
Ebirango by'embaga ya Martin
Kisige Tibalira ne Proscovia
Nabirye byatandise mu Klezia ya
Our Lady of Fatima mu kibuga
Jinja. Embaga ya mwezi gujja.
Kisige musuubuzi mututumufu mu
Jinja mw'alina n'ebizimbe.
Norah Baseka abeera e Nabitende
mu disitulikiti y'e Iganga
yategeezezza Bukedde nti, Kisige
yamukwana mu 1978 ne babeera
mu mukwano era n'amuzaalira
omwana asooka mu 1980.
Baagattibwa nga March 28, 1981
mu Klezia ya Our Lady & All Soul
Catholic Church, Budini. Eyabagatta
ye Rev. Fr. Sylvester Mudago.
Agamba nti mu kiseera ekyo
Kisige yali tannafuna ku ssente
era maama wa Baseka, Margret
Batyakunaga ye yabawa ssente
ezaayamba Kisige okupangisa
omudaala mu katale e Jinja.
Ku mudaala ogwo ne ssente za
nnyazaala we, Kisige kwe yalandira
okufuuka omusuubuzi
ow'amaanyi.
Baseka agamba nti mu 1982,
baazaala omwana omulala era kwe
baakoma.
Kisige mu kiseera ekyo omulimu
gwe omukulu gwali gwa busomesa
mu pulayimale e Mwiri. Omudaala
yali bizinensi eyatandikibwa
okubayambako mu bya ssente.
"Baze yatandika okukyuka nga
buli kiseera ayomba n'okunkuba.
Nnanoonyereza ne nzuula nga yali
afunyeyo omukazi omulala gwe
nnamanya nga ye Proscovia Nabirye"
bwe yategeezezza Bukedde.
Agamba nti, "nnafuna olubuto
olwokusatu wabula Kisige yansamba
olubuto ne luvaamu ne bantwala
mu ddwaaliro era bwe nnavaayo ne
nzirayo eyaffe e Nabitende ntaase
obulamu bwange.
Ewaffe nnaddayo mu 1985
ekyawa Kizige oluwenda okuleeta
Nabirye awaka okutuusa kati lwe
basazeewo okutukuza obufumbo
bwabwe.
Baakoze enteekateeka z'embaga
ne batandika okubalanga mu Eklezia.
Waliwo abaatwalidde Baseka
amawulire n'ajja ng'agamba nti,
wadde tabeera na Kisige kyokka ye
mukazi we ow'empeta era Kisige
tayinza kuwasa mukazi mulala.
Agamba nti bwe yamanya
eby'embaga yatuukirira Kisige
boogeremu n'agaana. Ensonga
zaatwalibwa mu kkooti ya Eklezia
n'ebatuuza. Alumiriza nti Rev.
Fr. Vincent Ndada yawandiika
ebyayogerwa n'abissa mu bbaluwa
gye yawandiikidde Omusumba w'e
Jinja Rt. Rev. Fr. Charles Wamika
nga October 15, 2020 ng'awabula
obutakkiriza mbaga eno kugenda
mu maaso.
Mu bbaluwa ya Fr. Ndada, Bukedde
gye yalabyeko agamba nti, teri
kintu kiyinza kusazaamu bufumbo
butukuvu okusinziira ku nsomesa
ya Ekelezia okuggyako okufa nga
kwe kwawukanyizza abafumbo.
Kyokka Bukedde teyafunye Fr.
Ndaba kwogera ku nsonga eno.
Kyategeezeddwa nti Kisige yasooka
kugenda mu kkooti n'asaba
okwawukana ne Baseka ng'agamba
nti Baseka yazaala abaana ebbali,
okuyomba n'okumuswaza
n'amuweebuula. Kyokka Bukedde
teyafunye nsala ya kkooti.
BASEKA YAKKIRIZZA NTI KITUUFU
ALINA ABAANA BE YAZAALA EBBALI
Baseka ng'ayita mu bannamateeka
be aba Kigozi and Patners
Advocates yawandiise ebbaluwa
eyeemulugunya ku mbaga eteekebwatekebwa.
Zino yazitutte ku klezia
ya St. Fatima ekulirwa Fr. Paul
Wandera Okello etekateeka omukolo,
ew'omusumba wa Jinja Rt.
Rev. Fr. Charles Wamika n'ewa bba
we Tibalira wabula bonna baganye
okuzikwata.
Wadde ng'embaga endala
ezirangibwa mu kirango ky'eklezia
kuliko ennaku z'omwezi z'emikolo,
embaga ya Kisige Tibalira Martin
ne Nabirye Proscovia yo teragibwa
nnaku za mwezi lw'egenda
kubaawo.
Bw'atuukiriddwa ku ssimu ku
nsonga eno, Omugagga Kisige
ategeezezza nti, omukyala Baseka
akyadaagana nnyo ku nsonga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...