TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Katumwa ayimbuddwa n'ayogera abantu abaamusibisizza

Omugagga Katumwa ayimbuddwa n'ayogera abantu abaamusibisizza

Added 26th October 2020

OMUGAGGA David Katumwa ayimbuddwa n’ayogera b’agamba nti bebali emabega w’okumusibisa. Katumwa okuyimbulwa baamuggye mu kaduukulu ka poliisi ne bamusimba mu kkooti n’avunaanibwa okuwamba omwana n’amutwala ewuwe nga tafunye lukusa kuva mu bazadde b’omwana.

Omugagga Katumwa

Omugagga Katumwa

Ono nga ye nnannyini dduuka eritunda ebyemizannyo erya Katumwa Sports Center era avuganya ku kifo ky'omubaka wa munisipaali y'e Nansana mu Palamenti yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Patience Lorna Tukundane owa kkooti y'eddaala erisooka e Makindye n'asomerwa omusango gw'okuwamba omwana ali wansi w'emyaka 18.

Ng'akyali mu kaduukulu, yakubye essimu mu Bukedde okunnyonnyola eby'omusango ogwamukwasizza n'agamba nti, waliwo ekkobaane wakati wa poliisi n'omu ku bantu baavuganya nabo ku ky'omubaka wa munisipaali y'e Nansana.

"Bantaddeko emisango emijweteke baagala bantwale mu kkooti ensindike mu kkomera e Kitalya bansibe emyezi mukaaga okutuusa ng'okulonda kuwedde," Katumwa bwe yategeezezza ku ssimu mu nnaku ey'ekitalo.

Katumwa yakwatibwa ku Mmande ekiro mu maka ge agasangibwa e Makindye mu Kizungu n'atwalibwa ku poliisi e Katwe gye yabadde akyakuumirwa n'okutuusa ku Lwokutaano ku makya gye baamuggye okumusimba mu kkooti.

Yagambye nti omwana ow'emyaka 17 gwe bamulumiriza okuwamba yadduka ku nnyina oluvannyuma lw'okumukwata n'akalenzi bw'agenda ewuwe okufuna obubudamu kubanga mukwano gwa mutabani we.

Yayongeddeko nti, olw'okuba obudde bwali buwungedde yagaana omwana okusula ewuwe n'amuwekera adde ewaabwe nga kafiyu tannatuuka n'agamba nti, olw'okuba yali azzizza emisango ewaabwe, kyandiba nga yaddukira mu b'ehhanda ze era nnyina Yasimin Ahmed akimanyi bulungi kuba bawuliziganya ku ssimu.

Yayongeddeko nti tamanyi lwaki omwana agaanyi okubabuulira awatuufu w'ali. "Simanyi kinsibya kumala nnaku nnya nga ne bbondi baginnyimye.

Ekyewuunyisa omwana abakubira n'abagamba ali bulungi." Katumwa bwe yagambye. Yayongeddeko nti, yasaba nnyina w'omwana abakubire ebirango ku TV n'empapula z'amawulire ne bagaana n'ategeeza nti, omusango ogumusibya tagutegeera.

Mu kkooti Katumwa yabadde awolerezebwa munnamateeka Justine Mungoma era omusango n'agwegaana n'ategeeza kkooti nti ebimuvunaanibwa tabimanyiiko.

Mungo yasabye kkooti ekkirize Katumwa yeeyimirirwe n'aleeta abantu basatu okumweyirirwa era omuwaabi wa gavumenti Lydia Nakato n'akkiriza.

Wabula Nakato yategeezezza omulamuzi nti wadde abazze okweyimrira batuufu, okunoonyereza kukyagenda mu maaso nga ssinga Katumwa ayimbulwa yanditaataaganya okunoonyereza okukolebwa.

Bino looya wa Katumwa yabiwakanyizza ng'agamba nti omuntu we tayinza kubaako kyonna ky'akola ku musango guno.

Omulamuzi yakkiriza okusaba kwe n'amuyimbula ku kakalu ka kakadde kamu ez'obuliwo ate abaamweyimiridde obukadde busatu ezitali za buliwo omusango n'aguwa olwa November 9, lwe gunadda mu kkooti okuwulirwa.

OMUGAGGA David Katumwa
ayimbuddwa n'ayogera
b'agamba nti bebali emabega
w'okumusibisa. Katumwa okuyimbulwa
baamuggye mu kaduukulu
ka poliisi ne bamusimba mu
kkooti n'avunaanibwa okuwamba
omwana n'amutwala ewuwe nga
tafunye lukusa kuva mu bazadde
b'omwana.
Ono nga ye nnannyini dduuka
eritunda ebyemizannyo erya
Katumwa Sports Center era
avuganya ku kifo ky'omubaka wa
munisipaali y'e Nansana mu Palamenti
yasimbiddwa mu maaso
g'omulamuzi Patience Lorna
Tukundane owa kkooti y'eddaala
erisooka e Makindye n'asomerwa
omusango gw'okuwamba omwana
ali wansi w'emyaka 18.
Ng'akyali mu kaduukulu,
yakubye essimu mu Bukedde
okunnyonnyola eby'omusango
ogwamukwasizza n'agamba nti,
waliwo ekkobaane wakati wa
poliisi n'omu ku bantu baavuganya
nabo ku
ky'omubaka wa
munisipaali y'e
Nansana.
"Bantaddeko
emisango emijweteke
baagala
bantwale mu
kkooti ensindike
mu kkomera
e Kitalya bansibe
emyezi
mukaaga okutuusa
ng'okulonda kuwedde,"
Katumwa
bwe yategeezezza
ku ssimu mu
nnaku ey'ekitalo.
Katumwa
yakwatibwa ku
Mmande ekiro mu
maka ge agasangibwa
e Makindye
mu Kizungu
n'atwalibwa ku
poliisi e Katwe gye
yabadde akyakuumirwa
n'okutuusa ku Lwokutaano
ku makya gye baamuggye
okumusimba mu kkooti.
Yagambye nti omwana
ow'emyaka 17 gwe bamulumiriza
okuwamba yadduka ku nnyina
oluvannyuma lw'okumukwata
n'akalenzi bw'agenda ewuwe
okufuna obubudamu
kubanga mukwano
gwa mutabani we.
Yayongeddeko nti,
olw'okuba obudde bwali
buwungedde yagaana
omwana okusula ewuwe
n'amuwekera adde
ewaabwe nga kafiyu
tannatuuka n'agamba
nti, olw'okuba yali azzizza
emisango ewaabwe,
kyandiba nga yaddukira
mu b'ehhanda ze era
nnyina Yasimin Ahmed
akimanyi bulungi kuba
bawuliziganya ku ssimu,
Yayongeddeko nti
tamanyi lwaki omwana
agaanyi okubabuulira
awatuufu w'ali. "Simanyi
kinsibya kumala nnaku
nnya nga ne bbondi
baginnyimye. Ekyewuunyisa
omwana abakubira
n'abagamba ali
bulungi." Katumwa bwe
yagambye. Yayongeddeko nti,
yasaba nnyina w'omwana abakubire
ebirango ku TV n'empapula
z'amawulire ne bagaana
n'ategeeza nti, omusango ogumusibya
tagutegeera.
Mu kkooti Katumwa yabadde
awolerezebwa munnamateeka
Justine Mungoma era omusango
n'agwegaana n'ategeeza kkooti
nti ebimuvunaanibwa tabimanyiiko.
Mungo yasabye kkooti ekkirize
Katumwa yeeyimirirwe n'aleeta
abantu basatu okumweyirirwa
era omuwaabi wa gavumenti
Lydia Nakato n'akkiriza.
Wabula Nakato yategeezezza
omulamuzi nti wadde abazze okweyimrira
batuufu, okunoonyereza
kukyagenda mu maaso nga
ssinga Katumwa ayimbulwa
yanditaataaganya okunoonyereza
okukolebwa.
Bino looya wa Katumwa
yabiwakanyizza ng'agamba nti
omuntu we tayinza kubaako kyonna
ky'akola ku musango guno.
Omulamuzi yakkiriza okusaba
kwe n'amuyimbula ku kakalu ka
kakadde kamu ez'obuliwo ate
abaamweyimiridde obukadde
busatu ezitali za buliwo omusango
n'aguwa olwa November 9, lwe
gunadda mu kkooti okuwulirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...