TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze gwe balumiriza okubakolako effujjo akwatiddwa

Abatuuze gwe balumiriza okubakolako effujjo akwatiddwa

Added 26th October 2020

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa okugiraga omwana we.

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abaserikale nga bakutte Kirumira. Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

OMUVUBUKA abatuuze gwe baalumirizza okubakolako effujjo buli lw'akozesa ebiragalalagala n'abakubisa waya z'amasannyalaze poliisi emukutte wakati mu kulwanyisa abaserikale n'okubawemula.

Swaib Kirumira 30, omutuuze w'omu Kiggundu zzooni yakwatiddwa poliisi y'oku Kaleerwe olw'abatuuze okumulumiriza okubakolako effujjo n'abakubisa waya z'amazannyalaze.

Christine Namulindwa yategeezezza nti Kirumira ekyalo kyatuulako mu 2018 abatuuze ne basalawo agobwe ku kyalo ne yeegayirira ne bamuddiramu nga kati abafuukidde ekizibu ng'akuba abaana n'abantu abakulu awatali nsonga nga n'aba LC tabatya n'abaserikale abamu bamutya kuba buli lw'akwatibwa asooka kubakuba bikonde. Yagasseeko nti Kirumira yakkakkanye mu mwana we n'amukuba waya z'amasannyalaze   n'afuna obuvune .

Abaserikale nga bakutte Kirumira. Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Paul Kibuuka ssentebe wa Dbobbi yategeezezza nti bazze bafuna okwemulugunya okuva mu batuuze nga Kirumira bwafuuse ow'omutawaana.  Yagasseeko nti Kirumira talina gw'atya kuba naye yabadde agenda kumukuba ng'ensonga zaggweeredde ku poliisi ng'abatuuze abakuba abagamba alina kitaawe RDC amuggya mu makomera.

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa okugiraga omwana we.

Frank Ayo akulira poliisi y'oku Kaleerwe yategeezezza nti abatuuze baludde nga beemulugunya ku Kirumira okubakolako effujjo. N'asaba abakulembeze ba LC okukolagana ne poliisi bagibuulire abavubuka abamenyi b'amateeka bakwatibwe.  Emisango giri ku fayiro nnamba SD:27/14/10/2020.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tumukunde mu lukungaana.

Be baagoba ku ttaka ly'ebib...

MAJ. Gen. Henry Tumukunde asuubizza okuliyirira abantu bonna abaagobwa ku ttaka lye bibira n'okukyusa ebyenjigiriza...

Amuriat ng'ali e Terego.

Poliisi etaasizza Amuriat o...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku Bwapulezidenti, amaze essaawa nnamba ng'asobeddwa oluvannyuma...

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...