TOP

Poliisi ekutte Sipapa

Added 26th October 2020

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa kwa Sipapa kyokka n'ategeeza nti yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi mu kiro ky'Olwokuna oluvannyuma lw'okukola siteetimenti.

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

POLIISI ekutte SIPAPA ku by'okukuba amasasi mu bantu e Kamwokya. Bamukunyizza okumala essaawa mukaaga.

Charles Olim amanyiddwa nga SIPAPA yakwatiddwa poliisi ya Kira Road ebadde emaze akabanga ng'emunoonya abuuzibwe akana n'akatano ku by'okukuba amasasi e Kamwokya okumpi n'ekitebe kya NUP.

Yabadde ne mukwano gwe bwe bakola ogw'okukunga n'okunoonyeza NRM obuwagizi, Full figure (Jennifer Nakangubi) ku Lwokuna nga bagenze ku poliisi eno okununula omuvubuka Abdul Rahman eyayoolebwa poliisi gyebuvuddeko nga bamuteebereza okunyakula akasimu k'omuntu.

Yabadde akyalinda okubawa Rahman ne bakamutema nti mukwate era poliisi erudde ng'emunoonya. Yakaze kwewoozaako ng'abaserikale bamugamba kimu kukkakkana bamubuulire ekiddako.

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa kwa Sipapa kyokka n'ategeeza nti yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi mu kiro oluvannyuma lw'okukola siteetimenti.

Ab'ekibiina kya NUP wamu n'abavubuka b'e Kamwokya gyebuvuddeko beekubira enduulu ku poliisi nga balaga obutali bumativu ne Sipapa gwe balumiriza okugendangayo n'abasosonkereza n'okubakolako effujjo era enfunda bbiri ng'amasasi gavuga.

Olwasembayo poliisi yayiibwa mu bungi okugumbulula abavubuka abaali beesaze akajegere.

POLIISI ekutte SIPAPA ku
by'okukuba amasasi mu bantu
e Kamwokya. Bamukunyizza
okumala essaawa mukaaga.
Charles Olim amanyiddwa
nga SIPAPA yakwatiddwa poliisi
ya Kira Road ebadde emaze
akabanga ng'emunoonya
abuuzibwe akana n'akatano ku
by'okukuba amasasi e Kamwokya
okumpi n'ekitebe kya
NUP.
Yabadde ne mukwano gwe
bwe bakola ogw'okukunga
n'okunoonyeza NRM obuwagizi,
Full figure (Jennifer Nakangubi)
ku Lwokuna nga bagenze
ku poliisi eno okununula omuvubuka
Abdul Rahman eyayoolebwa
poliisi gyebuvuddeko
nga bamuteebereza okunyakula
akasimu k'omuntu.
Yabadde akyalinda okubawa
Rahman ne bakamutema nti
mukwate era poliisi erudde
ng'emunoonya.
Yakaze kwewoozaako
ng'abaserikale bamugamba
kimu kukkakkana bamubuulire
ekiddako.
Patrick Onyango omwogezi
wa poliisi mu Kampala
n'emiriraano bwe yatuukiriddwa
ku ssimu yakakasizza okukwatibwa
kwa Sipapa kyokka
n'ategeeza nti yayimbuddwa
ku kakalu ka poliisi mu kiro
oluvannyuma lw'okukola siteetimenti.
Ab'ekibiina kya NUP wamu
n'abavubuka b'e Kamwokya
gyebuvuddeko beekubira
enduulu ku poliisi nga
balaga obutali bumativu ne
Sipapa gwe balumiriza okugendangayo
n'abasosonkereza
n'okubakolako effujjo era enfunda
bbiri ng'amasasi gavuga.
Olwasembayo poliisi yayiibwa
mu bungi okugumbulula abavubuka
abaali beesaze akajegere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.

Bobi Wine agudde mu lukwe l...

Asimbudde Fort Portal kumakya olwaleero n’agenda e Bundibugyo kyokka tebamuganyizza kutuuka mu kibuga wakati

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...