TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamukutte mu bubbi ne yeekaza, maama ampa buli kimu siraba lwaki nziba

Bamukutte mu bubbi ne yeekaza, maama ampa buli kimu siraba lwaki nziba

Added 26th October 2020

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba, kuba okuva lwe baankuba mu 2019 ne mpisibwa bubi, okuva olwo nnava ku bubbi."

EYATEEZE omusaabaze ng'ava mu ttakisi n'amubbako essimu poliisi emukutte abatuuze ne bamuwaako obujulizi nga bwali omumenyi w'amateeka ow'olulango.

Herbert Kalule ye yakwatiddwa poliisi y'oku kapaapaali e Mulago  ne bamuggulako omusango gw'okubba essimu ku musaabaze eyabadde ava mu ttakisi ng'ono abatuuze baamuwaddeko obujulizi nga bwali mu kibinja ky'ababbi ekitigomya Kawempe nga buli lw'azze akwatibwa, ayimbulwa.

Kalule (ku ddyo) eyakwatiddwa.

Justine Mbabazi yagambye nti yabadde ava Mbarara ng'agenda wa muganda we e Mulago bwe yatuuse ku siteegi w'aviiramu e Mulago mu kufuluma ttakisi Kalule we yamunyakuliddeko essimu n'adduka wabula abantu abaamulabye baayambye okumukwata n'atwalibwa ku poliisi.

Kalule mu kwewozaako yagambye nti, "Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba, kuba okuva lwe baankuba mu 2019 ne mpisibwa bubi, okuva olwo nnava ku bubbi."

Omutuuze Kato Muwonge yategeezezza nti Kalule y'omu ku batigomya Mulago ng'azze akwatibwa n'ayimbulwa ng'ekisinga okwewuunyisa bazadde be bamuwakanira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.