TOP
  • Home
  • Amawulire
  • EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO KWE NATANDIKIRA OBULUNZI

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO KWE NATANDIKIRA OBULUNZI

Added 26th October 2020

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira ekiyumba mwe zibeera . Ku mbuzi agattako okulima enva endiirwa nga muno mulimu nnakati, ebbugga, doodo n’emboga. Obusa bw'embuzi bw'akozesa nga ekigimusa mu nva zino.

Zzimula n'embuzi ze.

Zzimula n'embuzi ze.

VISION GROUP efulumya ne Bukedde ng'eri wamu n'ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y'ennyonyi eya KLM n'ekola emmere y'ensolo eya Koudjis enoonya omulimi n'omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2020 wansi w'omulamwa ogugamba nti, Obulimi nga bizinensi. Okuvuganya oweereza amannya go oba omulimi n'omulunzi gw'omanyi ku kitundu kyo ku 8338, Email, omulimiasinga@newvision.co.ug. Wandiika amannya g'omulimi, ekyalo kw'abeera, disitulikiti n'ennamba . BENJAMIN SSEMWANGA yasisinkanye Cissy Zzimula n'amunyumiza engeri gye yatandikamu okulunda embuzi.

ZZIMULA , mutuuze w'e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira ekiyumba mwe zibeera . Ku mbuzi agattako okulima enva endiirwa nga muno mulimu nnakati, ebbugga, doodo n'emboga. Obusa bw'embuzi bw'akozesa nga ekigimusa mu nva zino.

OKUTANDIKA
Obulunzi yabutandika n'embuzi emu eyamuweebwa mu musomo gwe baali bagenzeemu nga abakulembeze. Mu mbuzi eno mwe muvudde ekisibo ky'alina leero. Ku mbuzi eyampeebwa mu musomo guno kwe nayongereza endala gye nagula 250,000/-. Mu kiseera kino nnina embuzi ezisoba mu 50 era ntegeka okugaziya eddundiro lyange nsobole okukola ffaamu esibola okugendako embuzi ezisoba mu 200.

ENFUNA
Okulunda embuzi mu kiseera kino nkyenyumirizaamu kubanga nfunyeemu ebintu eby'enjawulo. Embuzi ento ngitunda 250,000/- ate enkulu ngitunda wakati wa 400,000-700,000/- okusinziira ku bunene bwayo. Omulimu gw'obulunzi gufunira ddala ng'otaddemu obuyiiya n'okugenda mu misomo egy'enjawulo.

OKWEWALA ENDWADDE
Nfuba okulaba nga nziriisa bulungi , zaagala nnyo ebikuta by'amatooke ebikalu.
Nfuna omusawo azigema ebiwuka era kuno nteekako okuzifuuyira eddagala ku mubiri gwazo nga lino ligobako ebiwuka eby'enjawulo ebiyinza okuzirwaza.
Kino kiziyamba okukula obulungi awatali kutaataaganyizibwa ndwadde na biwuka era nfaayo okuyonja ekiyumba mwe zisula.

AKATALE
Akatale nkafuna mu bantu ssekinoomu naddala abo ababeera beetaaga embuzi ento era nga zino zinkolera kubanga buli emu ngitunda 250,000/-. Ento ze nsinga okufunamu.

OKUYAMBA ABALALA
Omulimu gw'obulunzi gunnyambye okuyimusa abakyala mu kitundu kubanga bangi banneebuuzaako era nabo ne batandika okulunda mu maka gaabwe.

EBISOOMOOZA
Ekitundu we nnundira wafunda era ebiseera ebimu zidduka ku baana ababeera bazirabirira ate ne zireetawo obuzibu mu bantu be mbeeramu.

EBISEERA BY'OMU MAASO
Njagala okukola ffaamu y'embuzi eya maanyi kinsobozese okubeera omulunzi owa maanyi mu ggwanga n'okuwa abalala emirimu. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...