TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisitule y'ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka okuyamba abazzeeyo

Minisitule y'ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka okuyamba abazzeeyo

Added 26th October 2020

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina ebirala ebiri mu kwetegekera okukola ebigezo bya UNEB okusobola okwanguyiza abayizi.

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

MINISITULE y'ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n'ab'ebibiina ebirala ebiri mu kwetegekera okukola ebigezo bya UNEB okusobola okwanguyiza abayizi.

 

Minisita JC Muyingo.

Mu nkyukakyuka zino, ebirina okusomesebwa bikendeezeddwaako ate ebirala ne bifunzibwa olw'ebbanga eddene abayizi lye bafiiriddwa nga bali awaka. Amasomero gaggalawo nga March 20, 2020 mu kwewala okusaasaana kw'ekirwadde kya Corona.

EBIKYUSIDDWA MU P7
Akakiiko akavunaanyizibwa ku kuteekateeka ebirina okusomesebwa abayizi, aka National Curriculum Development Centre kalaze olukalala lw'ebirina okusomesebwa mu Lungereza, Okubala, SST ne Science era ne kategeeza nti kasunsuddemu ebyo ebikulu era ebitali bikulu ne birekebwa ebbali.

1. Mu Lungereza (English) ebintu nga okusomesa okuwandiika ebbaluwa (Letter writing) kulekeddwa ebweru. Ebibadde birina okusomesebwako (Topics) biri 7 wabula byakendeezeddwa ne balekawo 5.

2. Mu ssomo ly'okubala (Mathematics) mu P7, ebirina okusomesebwako biri 11 mu mwaka gwonna, wabula byakendeezeddwa ne bifuulibwa 10 okuli: Set Concepts, Whole Numbers, Operations on Whole Numbers, Patterns and Sequences, Fractions, Integers, Data Handling, Geometric Construction, Length, Mass and Capacity ne Algebra.

Ebikyusiddwa minisitule ne UNEB by'egenda okwesigamako okutegeka ebibuuzo by'abayizi b'omwaka guno abali mu P7, S4 ne S6. Ekiwandiiko kya National Curriculum Development Centre kiraga nti enkyukakyuka zino zikendeeza ne ku budde abayizi bwe bawummula kw'ossa n'okuggyawo ebikolebwa ebweru w'ekibiina omuli n'ebyemizannyo.

Kyokka n'olusoma lugenda kubeera lumpi nga lufuuse lwa myezi ebiri okuva ku myezi esatu abayizi gye babadde basoma bulijjo. Ennaku z'olusoma olwokubiri zaalina kubeera 89, bagenda kusomera 63 bafune oluwummula olumpi ddala balyoke baddeyo mu lusoma olwokusatu olugenda okuyingira ne mu mwaka ogujja, mwe basuubira n'okukolera ebigezo eby'akamalirizo (PLE, UCE ne UACE). Abayizi bazzeeyo nga October 15, 2020 okumaliriza emisomo mu P7, S4, S6 n'amatendekero aga waggulu ku bali mu mwaka ogusembayo.

3. Okukendeeza okwo kwakoleddwa ne ku masomo ga S4 ne S6 aga Sciences ne Arts okutuukana n'obudde obutono obuliwo era ebyasaliddwaawo byakuweerezebwa abaddukanya amasomero n'okwanjulirwa abasomesa babisse mu nkola
Grace Baguma akulira National Curriculum Development Centre yagambye nti enteekateeka eyo baagikoze n'obwegendereza okukakasa nti omuyizi ayiga ebyo by'ateekeddwa okusoma mu budde obutono, aleme kufiirwa era kimusobozese n'okugenda ku ddaala eriddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...