TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaserikale musse ekitiibwa mu Ssemateeka - Ssaabasumba Lwanga

Abaserikale musse ekitiibwa mu Ssemateeka - Ssaabasumba Lwanga

Added 26th October 2020

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda n'okussa ekitiibwa mu ssemateeka w’eggwanga.

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

SSAABASUMBA w'Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda n'okussa ekitiibwa mu ssemateeka w'eggwanga.

Yasinzidde mu Mmisa ey'okukuza olunaku lw'Essaza erya Kampala n'okujaguza emyaka 54 bukya ssaza lino litandikibwawo mu 1966. Yavumiridde ebikolwa eby'okutyoboola eddembe ly'obuntu naddala mu kiseera kino eky'okunoonya akalulu.

Yabadde mu Lutikko e Lubaga ku Ssande. "Gavumenti bw'eba yateekawo okulonda, abakuumaddembe balina okussa ekitiibwa mu ddembe ly'obuntu n'okubaleka okwetaaya," Ssaabasumba bwe yategeezezza. Yavumiridde effujjo eryakolebwa ku Musumba w'e Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa n'ab'Embogo wiiki ewedde poliisi ng'eduumirwa Alex Mwine Mukono bwe yakuba mu bantu abali mu Mmisa omukka ogubalagala.

Dr. Lwanga era yatongozza omubala gw'Essaza omupya ogugamba: Tunnyikize okukkiriza, okusuubira n'okwagala nga tubeera bajulirwa ba Kristu abalungi. Omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi yeebazizza Eklezia olw'okulambika abantu n'okubagatta.

Ate Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe yatisse minisita wa Kabaka ow'ebyenkulaakulana, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, yasabye abantu okwongeramu amaanyi okulaba nga bakuuma n'okwongera kw'ebyo ebituukiddwaako mu myaka 54 egy'essaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.