TOP

Batabukidde omusamize mu lukiiko lw'ekyalo

Added 26th October 2020

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba n’abayingiza mu ssabo lye n’atandika okubatulugunya nga bw’abasaba ssente.

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

ABATUUZE b'e Jjokolera mu ggombolola y'e Nangabo mu disitulikiti y'e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n'abawamba n'abayingiza mu ssabo lye n'atandika okubatulugunya nga bw'abasaba ssente.

 

Umaru Kakooza gwe balumiriza.

Baabadde mu lukiiko olwatuuziddwa oluvannyuma lw'okumala ebbanga nga beemulugunya ku musamize Umaru Kakooza gwe bagamba nti ayitiridde okubatulugunya. Olukiiko luno lwakubiriziddwa ssentebe w'ekitundu kino Moses Ntambaazi nga lwetabiddwaamu abaserikale ba poliisi abaakulembeddwa akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Namalere, Ronald Muwanguzi ne balooya abavudde mu kitongole kya Justice Centre Uganda abaakulembeddwa Mohammad Wasswa.

Abatuuze okubadde Mastullah Namagembe, Mmere Najjuma, Ssaalongo James Yiga Wasswa baalumirizza Kakooza okubawamba n'abayingiza mu ssabo n'abatulugunya n'okubaggyako ssente. Ssaalongo Yiga yagambye nti, "Nali nkomawo awaka kwe kusanga Kakooza ng'ali n'ekibinja ky'abavubuka ne bankwata ne bannyingiza mu ssabo era nagezaako okukuba enduula ne banemesa ne batandika okuntulugunya era okukkakkana nga banzigyeko ssente zange 270,000/-.

Naddukira ku poliisi y'e Namalere ne nzigulawo omusango nnamba SD: 07/08/10/2020." Mmere Najjuma: "Nze namwekangira ku mulyango gwange ekiro ku ssaawa 8:00 n'atandika okuntiisatiisa kuba yalina omuggo nga gufaana nga oguliko akambe era yannyingiza mu nnyumba n'andagira okwebaka ku buliri okukkakkana nga nzigyeyo ssente zange 70,000/- era olwazimuwa n'agenda.

Masitullah Namagembe: "Nze n'obujulizi weebuli olunaku lwe naggya omwana wange mu ssabo ng'amuwambye naddukira ku poliisi ne sifuna kuyambibwa kwe kugenda ewa ssentebe Ntambazi eyangumya nti ensonga zino bagenda kuzitulamu." Wasswa Patrick: "Bakazi be banneetooloola olw'okuba nali sisobola kulwana nabo bankwata ne batambuza okutuuka mu ssabo ne banziggyako ssente era bwe nafuna oluwenda ne nziruka kyokka ne basigala nga bangoba okutuuka lwe nababulako.

Abatuuze abalala balumirizza omusamize ono okubawemula nga tataliza bakulu na bato nga basaba poliisi n'abakulembeze babeeko kye bakola ku nneeyisa ye. Ssentebe Ntambaazi yasabye Kakooza okukyusa mu nneeyisa ye nga singa takikola bajja kuwalirizibwa okumugoba ku kyalo.

Mohammad Wasajja okuva mu kitongole kya Justice Centre Uganda yategeezezza nga bwe bagenda okutwala omusamize mu kkooti singa agaana okukyusa ku mpisa ze. Akulira okunoonyerezza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Namalere, Ronald Muwanguzi yagambye nti abatuuze bangi bamulumirizza okubakolako efujjo nga singa takyusa mu nneeyisa ye poliisi ejja kumukwata.

Wabula ye omusamize Kakooza abatuuze baamulagidde okwetonda era n'afukamira n'abasaba okumusonyiwa ensobi ze n'agamba nti tasobola kubiddamu era n'akkiriza okubasasula ssente zaabwe ze yabaggyako ekintu abatuuze kye bakkirizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...