
Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.
POLIISI ekutte omusajja eyabadde n'abawagizi ba Joe Biden n'emmundu ejjudde amasasi okumpi n'olukuggaana lwa Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump.
Olukuggaana lwa Trump lwabadde ku kyalo ky'abasereebu abagagga ekimanyiddwa nga Beverly okuliraana Hollywood gye bazannyira ffirimu ku Lwomukaaga.
Basereebu n'abantu abalala nga be baabadde basinga obungi baabadde mu lukuhhaana olwabadde okumpi ennyo n'ekkubo ne zireeta emmotoka yaabuyonjo eyabaddemu omu ku basereebu abasula ku kyalo ekyo amanyiddwa nga Offset ayimbira mu kibiina kya Migos nga kirimu abavubuka abalala babiri okuli Takeoff ne Quavo.
Ono yabadde ne mukyalawe Cardi B nga mu mmotoka y'emu mulimu mukoddomi wa Offset ayitibwa Marcelo Almanzar eyabadde asonga mu bawagizi ba Trump emmundu bwe baabadde babayitako nga bali mu lukuhhaana. Abaalubaddemu baakubidde mangu poliisi essimu nti, waliwo abantu ababatiisatiisa n'emmundu nga bali mu lukuhhana lwabwe era poliisi yagobye mmotoka n'egisanga mu ddakiika ttaano.
Ekyaddiridde kuwaanyisiganya bigambo wakati wa Offset gwe baabadde balagira afulume emmotoka ng'agaanye. Yabadde ayogerera waggulu nga bw'agamba abaserikale nti, ‘nze temummanyi, ndi sereebu era mmwe muzze ku kyalo kyaffe. Abo abagamba nti mbasonzeemu emmundu be babadde bajja bagoba emmotoka yaffe kubanga bawagizi baffe.
Be basoose n'okukuba emmotoka yaffe bendera ekiwalirizza munnange bwe tubadde mu mmotoka okubalaga nti tuli nabo ng'awanika emmundu si kubatiisatiisa wabula ky'ekyo ky'abadde nakyo mu ngalo ky'abadde asobola okubalagirako nti tuli nabo.' Offset bwe yabadde ayogera kyokka poliisi nga bw'emukunguzza okumugya mu mmotoka n'emussa ku mpingu.
Amawulire ga Dilymail gamulaga ng'abawagizi ba Trump bamukuhhaniddeko bangi nga bwe bamukuba ebifaananyi. Poliisi oluvannyuma yakunyizza mukoddomiwe, Almanzar ne kikakasibwa nti ye yabadde n'emmundu n'asibwa nga yasabiddwa akakalu ka ddoola 35,000 ayimbulwe ezikyamubuze.
Omuyimbi Offset nga Muddugavu ne ffamire ye bawagizi ba Joe Biden attunka ne Trump mu kulonda okunaabawo nga November 3, 2020. Offset muyimbi mu kibiina ky'abayimbi wa Hip Hop era ekibiina kye ekya Migos kyatandika mu 2008.