TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Angella Katatumba ali mu kiyongobero lwa Nina Roz kumukuba bbusu: Alaze ekiddako

Angella Katatumba ali mu kiyongobero lwa Nina Roz kumukuba bbusu: Alaze ekiddako

Added 26th October 2020

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula mu bazadde.

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba agambye nti agenda kulaga ekiddako olwaleero ku by'omukolo gwa Daddy Andre eyayimba "Tugende mu Church" ne Nina Rose eyayimba "Anayinama".

Andre ne Katatumba baludde nga boogerwako ng'abalina enkolagana ey'enjawulo wabula bwe byatuuka ku by'okubeera siriyaasi, kigambibwa nti Andre ne yeebuzaabuza naddala bwe byatuuka ku by'obulamu bwabwe obwo mu maaso.

Ku Lwokutaano, Daddy Andre era nga ye yayimba "Sikikukweka", yakyadde mu maka ga bazadde ba Nina Rose ng'amannya amatuufu ye Nina Akankunda ku mukolo ogwabadde e Kireka era gwategekeddwa mu kyama ne gwetabwako abantu batono abalondemu.

Byasooka kuyitihhana nti Nina Rose era nga ye yayimba n'oluyimba oluyitibwa "Kipande" bw'apepeya ne Andre, wabula Nina Rose n'abiwakanya kyokka omukolo gw'okukyala mu bazadde gwe gwamaze eggobe mu kibya.

Daddy Andre ng'amannya ge amatuufu ye Andrew Ojambo, yasooka kukwatagana bulungi ne Angella Katatumba era mu nkolagana yaabwe ne bayimbiramu n'oluyimba "Tonneerabira".

Mu luyimba olwo, Daddy Andre yali alaga pulaani y'okutwala omwagalwa we balye ku bulamu ate nga Katatumba alaga nga bw'alinze era ng'alaajanira omwagalwa we aleke kwekunya ate tamwerabira kubanga yalinze dda.

Bukedde bwe yatuukiridde Katatumba eggulo okubaako by'annyonnyola ku bigenda mu maaso, yagambye nti akyeteekateeka okubaako by'ategeeza abawagizi be olwaleero ku ky'azzaako.

Omwaka oguwedde, Angella ne Andre baalaga enkolagana ey'enjawulo bwe baali boogerako ne bannamawulire, Angella n'awaana Andre okuba ow'akabi mu kukwata ennyimba, obwa ssita, omuyimbi omulungi n'ebirala.

Andre takoma ku kuyimba wabula alina sityudiyo mw'agattira ennyimba z'abayimbi era sityudiyo eyo ezze emukolera emikwano mingi mu bayimbi omuli n'abaakatandika okuyimba. Mu kiseera kino Nina Rose ali lubuto era kigambibwa nti lwa Andre.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.