TOP

Bba wa Rema gwe yaleka afunye amubiita

Added 26th October 2020

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza ku buko nti, “Muko katusuubire nti ggwe, teweegezaamu bwegeza ng’oli bwe yatukola. Yajja naye bwe yagenda teyadda”.

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Ebigambo bino byayogeddwa omuko Matovu Bukenya eyakulembeddemu abaana abalenzi mu luggya lwa Herbert Bukenya abaabadde baleeteddwa okwaniriza n'okubuuza ku bagenyi abaawerekedde ku Moses Kamya bwe yabadde ayanjulwa Betty Bushira Bukenya mu bakadde be.

Omukolo gwabaddewo ku Lwomukaaga e Kireka mu munisipaali y'e Kira wakati mu booluganda lw'omugole omukazi okukuba emizira n'enduulu eraga essanyu n'obuwanguzi obwatuukiddwaako Bushira ne bamukulisa obulumi bw'ayiseemu oluvannyuma lw'okusuulibwawo.

Betty yali agenda kufumbirwa Dr. Hamza Ssebunnya era nga n'omukolo ogw'okukyala gwali guwedde nga wasigadde kwanjula kyokka oluvannyuma n'amwekuba ng'amaze okusisinkana omuyimbi Rema Namakula gwe yali amaze ebbanga nga yeegomba era n'amuwasa mu November wa 2019.

Betty Bukenya we yayanjulidde munne mu bakadde, yalabise ng'omuzito era mu bimu ku bifaananyi ebyamukubiddwa yalaze nga musanyufu nnyo. Bwe yaleeteddwa okubuuza ku bagenyi yagambye munne ebigambo bino wammanga. "Mukwano Moze onnyize ekiwundu ekibadde kindya nga kkansa ku mutima gwange. Nali simanyi nti kiriwona naye okuva lwe nakusisinkana obadde ombudaabuda na kati okyambudaabuda weebale nnyo..." Betty bwe yagambye.

Mwana mulenzi Moses Kamya eyabadde ayanjulwa naye yamuzzeemu wakati mu mukwano omuyitirivu nti, "Munnange nze wendi mu buli mbeera ate ng'enda kubeerawo era nkukakasa nti omukwano gwaffe Mukama Katonda ye yagutonda y'ensonga lwaki twasisinkana".

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...