TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekisse Paasita Yiga Mbizzaayo: Abadde alumizibwa endwadde 5

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaayo: Abadde alumizibwa endwadde 5

Added 27th October 2020

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.

Abadde alumizibwa endwadde ttaano. Abadde ne ssukaali, ekibumba nga nakyo kirwadde, alusa (ulcers), puleesa.

Gye buvuddeko baamukebera oluvannyuma lw'omuwala okumulumiriza okumuzaalamu omwana n'atamulabirira n'okumusiiga siriimu.

Kyazuulwa nga Yiga alina akawuka akaleeta siriimu. Kigambibwa nti abadde yeekwata ku butambi n'abutereka era buli lwe wabaawo abagamba nti muyi ng'akozesa obutambi obwo okubuzannya ku ttivvi ye eya ABS ne ku mikutu gya ‘social media' okulaga nti ye mulamu katebule.

ATANDIKA OKUNAFUWA

1 Okunafuwa kyatandika ku bagezigezi abaamusomera ddiiru y'okugenda e South Afrika okutandikayo ekkanisa. Yakozesa ssente nnyingi ezaamutuusa n'okutunda ebimu ku bintu bye okuli ennyumba e Bulange mu Lubaga, ettaka n'emigabo mu ttivvi.

2 Ekirala yanyigibwa embeera y'obudde ey'obunnyogovu mu South Afrika ate nga yalinayo abayambi batono.

3 Yakomawo omwaka oguwedde 2019 ng'alabika bubi olw'obulwadde n'okumufera. Okulaga nti alina amaanyi yakola katemba bwe yeekubya ebifaananyi ng'ali mu ssanduuke y'abafu, n'okwambala ng'Omusiraamu.

Oluvannyuma yeetonda ng'Abasiraamu okuli Sheikh Nuuhu Muzata bamutaddeko akazito okuvvoola eddiini yaabwe. Yaddamu ne yeezimba okutuusa mu March 2020, Pulezidenti lwe yalangirira kalantiini, okuggalawo amakanisa n'ebirala okulwanyisa corona. Yiga yavaayo n'awakanya okuggala amakanisa kubanga eyo bizinensi ate nga ne corona taliiyo.

4 Yakwatibwa n'aggalirwa mu kkomera e Kitalya. Yayisibwa bubi nnyo olw'obutaba na ddagala n'ebyokulya. Omulamuzi Timothy Lumunye okumuyimbula yamala kufuna bukakafu nga Yiga alina ssukaali n'obulwadde obulala. Obulwadde bwamunyinyitira wiiki ssatu eziyise n'atwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya.

Yamalayo ennaku ntono n'azzibwa ewuwe nga gy'ava okugenda mu ddwaaliro. Omusawo we yasemba aweebwe ekitanda. Ku ntandikwa ya wiiki ewedde yeeyongedde okuba obubi n'assibwa mu kifo awajjanjabirwa abalwadde abayi. Ku Lwokutaano oluwedde amawulire gaasaasaanye nga gamubika.

Mutabani we, Andrew Jengo gwe yatendeka era gw'akola naye obusumba y'amubadde ku lusegere. Era ye yamubise mu butongole.

Abadde alumizibwa endwadde
ttaano. Abadde ne ssukaali,
ekibumba nga nakyo kirwadde,
alusa (ulcers), puleesa. Gye
buvuddeko baamukebera oluvannyuma
lw'omuwala okumulumiriza
okumuzaalamu omwana
n'atamulabirira n'okumusiiga
siriimu. Kyazuulwa nga Yiga alina
akawuka akaleeta siriimu.
Kigambibwa nti abadde yeekwata
ku butambi n'abutereka
era buli lwe wabaawo abagamba
nti muyi ng'akozesa obutambi
obwo okubuzannya ku ttivvi ye
eya ABS ne ku mikutu gya ‘social
media' okulaga nti ye mulamu
katebule.
ATANDIKA OKUNAFUWA
1 Okunafuwa kyatandika
ku bagezigezi abaamusomera
ddiiru y'okugenda e South Afrika
okutandikayo ekkanisa. Yakozesa
ssente nnyingi ezaamutuusa
n'okutunda ebimu ku bintu bye
okuli ennyumba e Bulange mu
Lubaga, ettaka n'emigabo mu
ttivvi. 2 Ekirala yanyigibwa
embeera y'obudde
ey'obunnyogovu mu South Afrika
ate nga yalinayo abayambi
batono. 3 Yakomawo omwaka
oguwedde 2019 ng'alabika bubi
olw'obulwadde n'okumufera.
Okulaga nti alina amaanyi
yakola katemba bwe yeekubya
ebifaananyi ng'ali mu ssanduuke
y'abafu, n'okwambala
ng'Omusiraamu. Oluvannyuma
yeetonda ng'Abasiraamu okuli
Sheikh Nuuhu Muzata bamutaddeko
akazito okuvvoola
eddiini yaabwe.
Yaddamu ne yeezimba okutuusa
mu March 2020, Pulezidenti
lwe yalangirira kalantiini,
okuggalawo amakanisa n'ebirala
okulwanyisa corona. Yiga
yavaayo n'awakanya okuggala
amakanisa kubanga eyo bizinensi
ate nga ne corona taliiyo. 4 Yakwatibwa n'aggalirwa
mu kkomera e Kitalya. Yayisibwa
bubi nnyo olw'obutaba na
ddagala n'ebyokulya. Omulamuzi
Timothy Lumunye okumuyimbula
yamala kufuna bukakafu nga
Yiga alina ssukaali n'obulwadde
obulala.
Obulwadde bwamunyinyitira
wiiki ssatu eziyise n'atwalibwa
mu ddwaaliro e Nsambya. Yamalayo
ennaku ntono n'azzibwa
ewuwe nga gy'ava okugenda
mu ddwaaliro. Omusawo we
yasemba aweebwe ekitanda.
Ku ntandikwa ya wiiki ewedde
yeeyongedde okuba obubi
n'assibwa mu kifo awajjanjabirwa
abalwadde abayi.
Ku Lwokutaano oluwedde
amawulire gaasaasaanye nga
gamubika.
Mutabani we, Andrew Jengo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...