TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Ssenyonga yeeyamye okulabirira abaana ba Paasita Yiga

Paasita Ssenyonga yeeyamye okulabirira abaana ba Paasita Yiga

Added 27th October 2020

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa nga babe.

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Ssenyonga yabadde ku kkanisa ye n'akowoola abakazi bonna b'agamba nti Yiga yabazaalamu abaana bajje ku ofiisi ye batwalibwe mu musaayi nga ssinga bazuulibwa nti ba Yiga waakubalabira mu buli kimu ku lw'ekkanisa n'okutereeza ekifaananyi ky'Abalokole.

"Buli mukazi oba omuwala ng'olina omwana nga Yiga ye yamukuzaalamu muleete tumukebere era ojja kuyambibwa" Ssenyonga bwatyo bwe yagambye n'agamba nti kino akikola si lwakuba nti awalana Yiga wabula akikola kukyusa kifaananyi kya kkanisa ebadde eyonoonese olw'Abasumba nga Yiga.

Abakazi n'abawala bangi ebbanga eriyise baavaayo nga balumiriza Yiga okubazaalamu n'atabalabirira nga kino Ssenyonga yagambye nti Yiga w'afiiridde ng'ensi yonna ekimanyi ate ng'abakazi bano abadde tabakkiriza kuvaayo kwogera mazima ssaako okubawa obuyambi.

Yagambye nti ekirungi Yiga w'afiiridde nga baamuggyako omusaayi era guli mu bitabo bya gavumenti nga guno gwe bagenda okweyambisa okukebera abaana bazuule abatuufu era nga bano abasangibwa nga ba Yiga mwetegefu okubalabirira mu buli mbeera.

Ssenyonga aludde ng'avumirira embuulira ya Yiga gy'agamba nti tekwatagana na njigirza ya bulokole wabula n'agamba nti mu kiseera kino amusabire abeera ng'atuuse mu kifo eky'okwesiima naddala ssinga abeera ng'afudde yeenenyezza.

Yayongeddeko nti ebbanga lw'amaze nga mulwadde, ye Ssenyonga asabye emirundi esatu bamukkirize alabe ku Yiga, amusabe yeenenye nga tannafa, kyokka tafunye mukisa ogwo wabula n'asaba Katonda abeere nga yamusonyiye byonna by'abadde akola.

Mu mbuulira ya Yiga abadde ajja awa abantu ebintu ebyenjawulo, Ssenyonga by'agamba nti bikontana n'enjigiriza y'ekilokole.

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga
owa Christian life church e
Bwaise yeeyamye okulabirira
abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa
nga babe.
Ssenyonga yabadde ku
kkanisa ye n'akowoola abakazi
bonna b'agamba nti Yiga yabazaalamu
abaana bajje ku ofiisi
ye batwalibwe mu musaayi nga
ssinga bazuulibwa nti ba Yiga
waakubalabira mu buli kimu
ku lw'ekkanisa n'okutereeza
ekifaananyi ky'Abalokole.
"Buli mukazi oba omuwala
ng'olina omwana nga Yiga
ye yamukuzaalamu muleete
tumukebere era ojja kuyambibwa"
Ssenyonga bwatyo bwe
yagambye n'agamba nti kino
akikola si lwakuba nti awalana
Yiga wabula akikola kukyusa
kifaananyi kya kkanisa ebadde
eyonoonese olw'Abasumba nga
Yiga.
Abakazi n'abawala bangi
ebbanga eriyise baavaayo
nga balumiriza Yiga okubazaalamu
n'atabalabirira nga
kino Ssenyonga yagambye nti
Yiga w'afiiridde ng'ensi yonna
ekimanyi ate ng'abakazi bano
abadde tabakkiriza kuvaayo
kwogera mazima ssaako
okubawa obuyambi.
Yagambye nti ekirungi Yiga
w'afiiridde nga baamuggyako
omusaayi era guli mu bitabo
bya gavumenti nga guno gwe
bagenda okweyambisa okukebera
abaana bazuule abatuufu
era nga bano abasangibwa nga
ba Yiga mwetegefu okubalabirira
mu buli mbeera.
Ssenyonga aludde
ng'avumirira embuulira ya Yiga
gy'agamba nti tekwatagana
na njigirza ya bulokole wabula
n'agamba nti mu kiseera kino
amusabire abeera ng'atuuse
mu kifo eky'okwesiima naddala
ssinga abeera ng'afudde
yeenenyezza.
Yayongeddeko nti ebbanga
lw'amaze nga mulwadde,
ye Ssenyonga asabye emirundi
esatu bamukkirize alabe ku
Yiga, amusabe yeenenye
nga tannafa, kyokka tafunye
mukisa ogwo wabula n'asaba
Katonda abeere nga yamusonyiye
byonna by'abadde akola.
Mu mbuulira ya Yiga abadde
ajja awa abantu ebintu ebyenjawulo,
Ssenyonga by'agamba
nti bikontana n'enjigiriza
y'ekilokole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...

Abamasaaba okuva mu disitulikiti ya Sironko ne Bulambuli abaayanirizza Pulezidenti Museveni ku ssomero lya Masaba SSS.

Obujiji n'okubinuka mu kamp...

Kwabadde kubinuka wonna mu ggwanga ng'abeesimbyewo ku bwapuledidenti banoonya akalulu. Bano abawagizi baabwe baabalaze...

Bobi Wine ne mukyala we Barbi e Kiboga.

Balabudde abaserikale abatu...

AB'EDDEMBE ly'obuntu balabudde nti bagenda kuwawaabira abaserikale abatulugunya abeesimbyewo, buli muserikale bagenda...

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...