TOP
  • Home
  • Amawulire
  • By'olina okukolera ku ttaka ly'obusika okulikuuma

By'olina okukolera ku ttaka ly'obusika okulikuuma

Added 27th October 2020

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe n'obugagga bwe. 

Nazzikkuno ng'omuntu alina ettaka n'amayumba abalibwa mu bagagga ng'era alifunye alikuuma butiribiri. Wabula ennaku zino engeri abamu gye balifunye nga tebalikoleredde, tebalitwala nga kya bugagga era obwavu olubaluma oba bwe beegwanyiza okuvuga ku mmotoka oba bodaboda nga balitunda. 

Edda ng'omuntu bw'afa, ng'omusika tasikira bintu wabula omusaayi n'obuvunaanyizibwa. Muno mwalimu okulabirira ebintu by'omugenzi, okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwalese, okulabirira banne okwawukanako n'ebiriwo ennaku zino. 

Abaana n'abooluganda bamanyi okulwanira ebintu by'abagenzi n'abamu okubiwamba ng'omuntu tannaba kufa kasita balaba ng'alwadde oba okusaba abazadde emigabo gyabwe nga bakyali balamu ekintu ekitaba kibi kasita kikolebwa mu mateeka.

ETTAKA LYE NASIKIRA NDIKUUMYE
Muzeeyi Dan Mutaawe ow'e Kitende y'omu ku bantu abatono abasobodde okulabirira n'okukuuma ebintu bye yafuna nga kitaawe afudde mu 1985: gy'emyaka 35 kyokka na guno guliko tatundangako yadde desimoolo  okuggyako okulikulaakulanya era ku myaka gy'amaze ku nsi kuno talabanga ku nnaku ya bupangisa. 

l. Mutaawe agamba nti edda ng'omwana ava buto ng'akimanyi nti alina okwekolerera. Naye ennaku zino abazadde bangi bakola ebintu ne babiteeka mu mannya g'abaana ssaako n'okubalaga nti byabwe ne kibaviirako obutafaayo kwekolerera. Kati abazadde bwe bafa ng'abaana emmaali bagitunda kubanga tebaagituuyanira wadde okumanya engeri gye bagikolamu.

2. Edda ng'okusikira omuntu tekuba kwezza bya bugagga bya mugenzi wabula okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'alese nga ne bw'aba abadde alina ekizimbe ky'alese abaana bafuba okukimaliriza okukuuma erinnya lya kitaabwe. 

TUSOOKA KULYETEGEREZA OKULIGULA
Mutaawe atulaze emitendera abasuubuzi b'ettaka n'amayumba gye bayitamu okugula ebintu by'abagenzi era n'ategeeza nti okulaama kintu kikulu eri omuntu yenna awezezza emyaka 18 alina ebintu wadde tannaba kufuna baana. Wano ffe abasuubuzi ekiraamo ly'eddaala erisookerwako okukakasa nti ali mu kutunda ye muntu omutuufu.
l Omuntu anaagula ettaka alina okugenda mu ofiisi ekola ku by'ettaka n'akola okunoonyereza okuzuula obukakafu ku ttaka. 

 Ssinga libeera lya kyapa kyandibadde kirungi n'osooka onoonyereza amannya mwe kiri nga tonnaba kukola kintu kirala.  Omugenzi ataaleka kiraamo ebintu bye bibeera mu mikono gy'akola ku nsonga z'abafu (Administrator general) era eno nayo tusooka kugendayo okusobola okukakasa obwannannyini okwewala entalo n'abooluganda lw'omugenzi.

Olina okufuna obukakafu nti ebbaluwa eranga okufa kw'omugenzi yalagibwa ku mikutu gy'amawulire okumala wiiki bbiri nga tewali akiwakanya. 
 Bw'omala okukakasa bino olina okutuula n'ab'ehhanda, abakulembeze b'ekitundu n'ab'ekika okukakasa nti tewali awakanya kutunda ttaka lino oba ennyumba. 

By'oyinza okukolera ku ttaka lino
 Bw'oba tozimbyeko maka, osobola okuteekako ennyumba z'abapangisa mu kifo ky'okulitunda. Zino ojja kufunamu ssente buli mwezi era gye biggweera nga z'ofunyemu nnyingi nnyo okusinga ne z'otunze. Osigaza ettaka ate n'obeera n'ennyumba.

Osobola okulimirako ebintu eby'obuwangaazi ng'ebitooke, emmwaanyi, okusimbako emiti nga Pine oba ebibala. Bino ojja kufunamu ssente nnyingi ng'ate n'ettaka lisigaddewo. Kino kikuyamba okutangira abaagala okulibba. 

 Ettaka bwe libeera ddene ng'omuntu talina ssente zirikulaakulanya, kiba kirungi n'otundako ekitundu ne weeyambisa ssente ezo okulikulaakulanya mu kifo ky'okulitunda lyonna. 

 Osobola okukolerako bizinesi nga okukuba bbulooka n'ozitunda ssente z'ofunamu ne zikuyamba okwekulaakulanya n'okukulaakulanya ettaka lino.  Ssinga ettaka libeerako eby'obugagga eby'omu ttaka ng'amayinja, omusenyu n'ebirala kirungi n'obisima ssente z'oggyamu ne zikuyamba okulikulaakulanya mu kifo ky'okulitunda. 

Oyinza okulisiba liizi n'oliwa omuntu alina obusobozi okulikolerako n'ofuna ssente. Liizi bw'eggwaako ng'olyeddiza kyokka olina okuba omwegendereza ku muntu gw'okolagana naye era olina okuba n'ebiwandiiko nga waliwo ne bannamateeka. 

Obukwakkulizo ku bintu by'obusika
Ssinga omugenzi abeera teyalaama ng'akyali mulamu, abooluganda basigaza obuyinza okugabanya ebintu mu baana. Mu mateeka buli mwana alina kufuna kyenkanyi  ku bintu by'omugenzi.

 Mu ddiini y'Obusiraamu ebintu by'omugenzi bigabwa mu mateeka ga Shariya.
 Ssinga wabaawo omwana aleetebwa oluvannyuma lw'okugabanya ebintu ne kikakasibwa nti ddala mwana wa mugenzi, alina okufuna kyenkanyi ku mugabo guno. Mu ngeri y'emu ssinga aba yabifuna nga si waaluganda bimuggyibwako. 

Mutaawe aluggamizza
 Mutaawe agamba nti omuntu bw'afa aba takyalina buvunaanyizibwa ku bintu bye. Yagambye nti ekiraamo tekirina ngeri gye kiyinza kulemesa baana kutunda bintu bibaweereddwa.

 Ssinga omugenzi abeera n'abakyala abasukka mu omu nga yabawasa mu mateeka gw'obufumbo obwogerwako mu Ssemateeka, balina okufuna kyenkanyi n'abaana baabwe ku mmaali y'omugenzi. 

 Mu mateeka abaana bonna ab'obuwala n'abalenzi balina okufuna kyenkanyi ku mugabo gw'omugenzi. Wabula omusika alina enkizo ya 1% okukira ku balala. 

 Yayongeddeko nti okutunda ebintu by'obusika tekisoboka kwewalika naye abantu babikozese okwekulaakulanya mu kifo ky'okubitunda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...