TOP

Lwaki Bobi akyusizza akakoofiira

Added 27th October 2020

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu kalulu k’Obwapulezidenti.

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine', akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu kalulu k'Obwapulezidenti.

Aggyeeko akakoofiira akamyuufu ne yeekubisa ekifaananyi ekipya, ky'awaddeyo mu kakiiko k'ebyokulonda. Ekifaananyi ab'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bakyanjulidde abawagizi baabwe ng'ekipande ekitongole kye bagenda okukozesa okunoonya akalulu ka 2021.

Ssaabawandiisi w'ekibiina, David Lewis Lubongoya yannyonnyodde nti bakyusizza oluvannyuma lw'okuwabulwa akakiiko k'ebyokulonda nti akakoofira akamyuufu tekakkirizibwa. Ku mukolo gwe gumu aba NUP baatongozza n'ehhombo gye baatuumye "Uganda Empya", mwe bagambira nti Uganda yeetaaga okuzza obuggya mu buli kimu omuli okumalawo obuli bw'enguzi, obubbi mu Gavumenti, ebyobulamu, ebyenjigiriza, amakubo amabi n'ebirala, era nti Kyagulanyi yekka y'asobola okubiddaabulula n'okutereeza eggwanga.

Lubongoya yagambye nti waliwo okusoomoozebwa omuntu waabwe kw'ayolekedde olw'ensonga nti Bannayuganda abamuwagira babadde bamanyidde enkoofiira gy'abadde yassa ku mutwe era nga kino kye kibawalirizza okutongoza ekifaananyi kye nga bukyali basobole okukimanyiira kubanga kye kigenda okukozesebwa mu kalulu.

Joel Ssenyonyi, omwogezi wa NUP yategeezezza nti bennyamivu olwa poliisi n'abakuumaddembe abalala okutimbululayo ebipande bya  Bobi Wine okwetooloola Kampala, ate nga bwe bassaayo ebya Pulezidenti Museveni, ekikyamu ate nga kiraga nti ebitongole byokwerinda birina kyekubiira mu kalulu aka 2021 akabindabinda.

Yagambye nti emirundi mingi babadde bavaayo okukiraga nti ebitongole byokwerinda birina kyekubiira nga beegaana naye kino kiraze lwatu nti balina gwe bakolera. Yatadde akakiiko k'ebyokulonda ku nninga okuvaayo ku nsonga eno bagivumirire basseewo n'ebibonerezo eri abo abagenda baggyayo ebipande by'omuntu waabwe.

Mu ngeri y'emu, yavumiridde ekyokukwata abawagzi baabwe olw'okwambala enkoofiira emmyuufu eriko akabonero ka People Power, ekigendereddwa okutiisatiisa kubanga teri tteeka lye bamenye. Bano era beemulugunyizza ku bannamagye abavuddeyo ne babassaako amaanyi nga n'abamu ku bannaabwe bakwatiddwa ne baggalirwa awatali musango era balumiriza nti ne bannamawulire batiisibwatiisibwa ne babagaana okubakyaza ku mikutu gyabwe.

BABAANUKUDDE                                                                                                  Wabula Omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza Bukedde nti aba NUP bwe baba balina obujulizi ng'abaserikale batimbululayo ebipande by'omuntu waabwe mu bukyamu, bagende basseeyo okwemulugunya, era poliisi nneetegefu okubayambako mu nsonga eyo.

Yannyonnyodde nti ebipande bye bagenda batimbulula mu kibuga by'abakulembeze bonna abeesimbyewo kubanga bibadde bisiikiriza kkamera zaabwe era tebataliza munnabyabufuzi yenna singa ekipande aba yakissa wakyamu.

Yayongeddeko nti waliwo bannabyabufuzi ab'enjawulo abaatutte okwemulugunya nga bwe waliwo abantu abaabulijjo abaggyayo ebipande mu kibuga, era eyo ensonga poliisi yatandise okuginoonyerezaako ate era nga mu ngeri y'emu ne KCCA bwetegeka ennambika eneegobererwa mu kutimba ebipande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...