TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lipooti ku ddwaaliro lya KCCA eryatundibwa etiisa

Lipooti ku ddwaaliro lya KCCA eryatundibwa etiisa

Added 27th October 2020

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde lipooti eyakoleddwa Ssaabaluggamya w'ebitabo bya gavumenti ku ddwaaliro lya KCCA eryatundibwa ku luguudo lwa Nkrumah mu 2008.

Yagambye nti amaze emyaka ng'asaba lipooti eraga engeri gye lyatundibwa. Lipooti yafulumiddeko omukono gwa John Muwanga. Lipooti eraga nti eddwaaliro lyatundibwa mu bukyamu, gattako ettaka kwe lyali litudde n'okumenyebwa kyali kimenya mateeka.

Yasinzidde kuno n'alabula buli eyeenyigira mu kutunda eddwaaliro lino nti waakunoonyezebwa era avunaanibwe. Yagambye nti abeenyigira mu kutunda eddwaaliro lino bagenda kukozesebwa nga kyakulabirako eri abalala abazze bagula ebintu bya gavumenti.

MINISITA TALINA BUYINZA KU BIPANDE BY'ABEESIMBYEWO                           

Ku bannabyabufuzi abatimba ebipande ku nguudo mu Kampala, Lukwago yagambye nti minisita wa Kampala talina buyinza kuyimiriza bannabyabufuzi kubitimba. Yategeezezza nti tewali tteeka ligaana munnabyabufuzi kutimba kipande ku nguudo mu kibuga n'akkaatiriza nti obuyinza bwonna buli mu kakiiko ka byakulonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...